TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

By Joseph Mutebi

Added 23rd May 2019

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Kid1 703x422

Fresh Kid ng'ali ne famire ye ssaako n'abakulu b'essomero lya Kampala Parents

BAZADDE b’omwana  omuyimbi Patrick Ssenyonjjo 7, amanyiddwa nga ‘Fresh Kid’ kyaddaaki batadde ekiragiro kya minisita  w’abaana  n’abavubuka , Florence Nakiwala Kiyingi mu nkola bwebamututte ku ssomero  lya Kampala Parents P/S , erimu kw’ago ku gasinga okubeera ag’obuvunaanyizibwa ge yabalagira okumusomesezaamu.

Minisita Nakiwala Kiyingi gye buvuddeko yateeka amateeka amakakali ku bazadde ne ba maneja b’ebujje lino ‘ Fresh Kid’ okuli okumugaana okuyimba mu mabaala , okuyimba ku bivvulu ekiro ennyo gattako okumuggya mu ssomero gy’abadde asomera e Matugga bamutwale mu ssomero eddene erinasobola okukuuma ekitone kye ng’ate era tasuliridde nakusoma kubanga ajja kubeera muntu wa mugaso nnyo gye bujja mu ggwanga.

Wadde minisita yasooka n'ategeeza nga ‘Fresh Kid’ minisitule ye yali egenda okumutwala mu ssomero ery’e kisulo  erya Kisubi Savio ku Lw’e Ntebbe kyokka Fresh Kid ne bazadde be ne bagaana nga bagamba nti tasobola kisulo  kubanga tagya kusobola kutwala kitone kye eky’okuyimba mu maaso.

Wano Nagagga Dr. Sudhir Ruparelia ne mutabani we Rajiv Ruparelia nga bayita mu kitongole kyabwe ekya ‘Ruparelia Foundation’ kwe kuvaayo ne bamuwa basaale ey’okusomera obwereere okuva mu P.2 mwali okutuuka mu P.7 nga buli kimu okuva ku fiizi, bitabbo, yunifoomu, okulambula[tour] n’ebirala bya bwereere.

Fresh Kid  ku Lwokuna olwaleero agenze ne bazadde be, maneja we Francis Kamoga ne bateeka omukono  ku ndagaano n’aba Ruparelia Foundation ng’omukolo gwabadde ku ssomero lya Kampala Parents e Naguru era Fresh Kid ne bamukwasa buli ekyetagisa okutandika okusoma ne bamulagira atandike ku Lwokusatu lwa wiiki egya.

Akulira essomero lino Daphine Kato, yakakasizza nti ‘Fresh Kid’ bamuwadde ekifo mu ssomero era nga yasoose kukola yintavuuyo eya P.2 nagiyita bulungi. Olungereza yafunye 90 ate okubaala 87.

“Abasinga babadde bogera ku Fresh Kid,  nti tamanyi lungereza si kituufu alumanyi ekimala era yaluyise bulungi era nkakasa eggwanga nti omwana ono afunye omukisa kubanga Kampala Parents ly’e ssomero erisinga obulungi n’omutindo mu ggwanga” bwatyo akulira essomero Daphine Kato bweyategeezezza.

Wabula yalabudde Fresh Kid, obutalowooza nti agya kubeera nga sereebu ku ssomero, wano ogenda kuyisibwa ng’abayizi abalala era tugenda kufuba okulaba ng’ofuka omu ku baana abasinga obulungi mu nsi yonna naddala mu bibuuzo bya P.7 kubanga eggwanga likutunnulidde.

“Buli lunnaku olina okukola ‘Home Work’ ng’ozeeyo eka era maneja lino tteeka olina okukakkasa nti amukoze. Ne wiikendi alina okukola kyekimu alyoke agende ayimbe naye temulina kumukooya nnyo kubanga buli lunnaku alina okusoma nga banne. 

Omukolo guno baleese n’omuyimbi Baby Gloria , eyawadde Fresh Kid amagezi okutwala okusoma ng’ekikulu kubanga omuyimbi asomyeko ebintu bimwanguyiira era kati nze gye ndaga ndabayo.

Maama wa Baby Gloria Betty Nakibuuka Ssenyonjjo yawadde Fresh Kid amagezi nti bwatuuka ku ssomero ne mu bazadde be aleme kwetwala nga sereebu kubanga akyali mwana muto era bano be bantu abagenda okumuyambako okukula obulungi era nze Gloria nakakoma okumukuba kibooko ng’azizza omusango.

Maama wa Fresh Kid Madrine Namata ne taata we Paul Mutabaazi beebazizza nnyo Ruparelia Foundation n’omwana waabwe kubanga kati nabo bafuuse abantu ab’omugaso mu nsi olw’omwana ono.

Akulira Ruparelia Foundation Mary Kobusigye yakakkasiza bannayuganda nti buli kye basubiza Fresh Kid bagya kukimuwa era tagenda kwejjusa obulamu bwe bwonna kubanga akwatiddwako abantu abatuufu. Ye Fresh Kid yasiimye okumuleeta mu ssomero lino nategeeza ngti kano kaseera ka kussoma era kazze teri agenda kumuk,ulembeera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza