TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakuba owa KCCA n’amubba alaze poliisi gye bawummulira

Eyakuba owa KCCA n’amubba alaze poliisi gye bawummulira

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2019

Eyakuba owa KCCA n’amubba alaze poliisi gye bawummulira

Kat7 703x422

OMUVUBUKA eyakubye omukozi wa KCCA n’amunyaga n’amuleka ng’ataawa atutte poliisi n’agiraga ebifo ye ne banne gye basinziira okujja okubba abantu n’awaayo n’olukalala okuli amannya ga banne.

Jafferi Kidayida eyakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okwetegereza ebifaananyi kkamera bye yakwata ng’ali mu kikolwa eky’okukuba Mathias Ssekamatte, ye yakulembeddemu abaserikale.

Abaserikale abakulembeddwaamu akulira poliisi y’e Nakasero, Francis Liiga , Kidayida yasoose kubatwala mu kibangirizi ky’Olubiri e Mengo awali ebimuli n’ategeeza nti waliwo abawummulirawo mu budde obwemisana nga bwe balinda obudde buwungeere bagende bateege ab’okubba. Kidayida era yatutte abaserikale mu Kisenyi wasula n’aggyayo akatabo k’agamba nti mulimu nnamba z’essimu za banne babba nabo.

Poliisi yakutte Collins Walugembe naye ali mu kibinja ekinyakula ssimu ku bantu ku nguudo ez’enjawulo ne bazitunda mu Cooper Complex. Bwe baavudde mu Kisenyi yabatutte emabega w’ekizimbe kya Ovino okuliraana ekkanisa y’Abakristaayo ng’eno banne bwe baamulengedde n’abaserikale ne baddukira mu mwala.

Kidayida yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okufuna ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera y’oku luguudo e Nakasero nga bimulage engeri gye yalumbamu Ssekamatte n’amukuba ejjinja ku mutwe n’amunyagako ebintu n’adduka. Oluvannyuma yakozesa essimu ya Ssekamatte n’akubira abooluganda lwe ne babasaba emitwalo 12 ze baasindika.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, bagenda kweyambisa amawulire Kidayida ge yabawadde okukwata banne baakolagana nabo mu kubba abantu ku kifuba n’okubavunaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira