TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2019

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo

Kip2 703x422

OMUSIIBI mu kadde k’okusiibulukuka yandibadde asooka n’afi ssaawo eddakiika emu n’asabiramu edduwa y’ekintu kyonna ky’agala kubanga mu budde obwo Allah abeera bulindaala okwanukula okusaba kw’oyo yenna alumwa enjala n’ennyonta.

Sheikh Dr. Rashid Semuddu agamba nti singa omusiibi awaayo eddakiika eyo emu yokka n’asabiramu buli ky’ayagala, Allah aba bulindaala okumwanukula kubanga alabira ddala ng’omudduwe ali mu kumulaajanira ate nga n’enjala emuluma.

Dr. Semuddu agamba: Nkubiriza buli musiibi yenna yeeyambise nnyo akadde kano ng’obudde butuuse obw’okusiibulukuka aweeyo eddakiika emu yokka alaajanire omutonzi we ajja kumwanukula mu buli ky’anaamusaba.

Omwezi guno nga Allah akuwadde amaanyi n’osobola okugusiiba, nyiikira nnyo okukoleramu n’emirimu emirala emirungi gugende okuggwaako ng’olinga mwana omuto ataliiko bbala lyonna kubanga ebibi byonna bye wasooka okukola biba bigenda kukusangulwako.

Allah yatutegeeza mu Kulaani nti, emirimu gyonna omukkiriza gy’akola kuno ku nsi giba gyigye naye bwe gutuuka ku gw’okusiiba, ogwo yagwesigaliza n’agamba nti gugwe era y’amanyi empeera egugyamu gy’alisasulamu agusiibye n’agumalako. Singa osiiba omwezi guno n’owerekerezaako emirimu emirungi ng’okusaddaaka, okusoma Kulaani, okuyimirirako ekiro n’osaba n’emirala suubira omugabo omunene okuva eri Allah.

Kyewuunyisa okulaba nga mu kiseera nga kino osangayo Abasiraamu abali mu kusekerera abalumwa enjala n’ennyonta naye nga beerabidde nti lugenda kukya ng’abo abaaseka mu kiseera nga kino ate be bali mu maziga nga beesiimisa abo abaasiiba. Nsaba abo abaayigirizibwa ku kusoma Kulaani okuginyiikirira ate n’abo abataafuna mukisa ogwo mu kukuguka mu lulimi Oluwalabu waakiri funa ey’olulimi lw’osobola olabe ng’ofaayo okugisoma.

Omukkiriza yenna wandibadde togayaalirira kusoma Kulaani kubanga egenda kukuwolereza ku ssaawa esembayo. Nabbi (S. A.W) yatugamba nti omuntu bw’asiiba n’agattako okusaddaaka, kizikiza ebyonoona byonna ebinene omuntu oyo bye yakulembeza okukola kasita aba nga yenenyezza obutabiddira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi