TOP

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2019

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Bok1 703x422

Dr.Kirangu (ku kkono), Muhangi ne Dr. Andrew Kambugu owa Infectious Disease Institute.

EKIBIINA ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kikubiddwa enkata ya nsimbi 60,000,000/- ziyambeko mu kulwanyisa obulwadde bwa siriimu.

Ensimbi zino zaavudde mu kitongole kya UNAIDS, era Dr. Karusa Kiragu, akikulira yagambye nti mu kiseera kino, kaweefube w’okulwanyisa siriimu bagenda kusinga kumussa ku bannabyamizannyo. " Tusookedde mu baabikonde nga tugenda kutalaaga kiraabu ez’enjawulo okusomesa abazannyi ne bannannyini zo ku ngeri gye balina okwewalamu obulwadde," Dr. Karusa bwe yategeezzezza ku mukolo ogwabadde ku wooteeri ya Kati-Kati e Lugogo ku Mmande.

Yagasseeko nti; "Twagala kuzza bikonde ku maapu wabula tulina kusooka kufa ku bulamu bw’abazannyi era tusoose na kulwanyisa siriimu." Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF, yategeezezza nti enkata eno yaakuwewula ekibiina ku bbula ly’ensimbi lye kirimu, n'okutaasa abazannyi kuba oluusi bakubagana ne beereeta omusaayi.

Kampeyini eno yaakubiri ng'etandika ku Lwakutaano n’okukebera abazannyi ku kiraabu ya Sparks Bombers e Luzira. Kiraabu endala ze bagenda okukyalira ku nnaku ez'enjawulo kuliko; Naguru, COBAP, Katwe Combined, ne A and B.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze