TOP

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa mu bukambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS Country Resort - Kigunga e Seeta oluvannyuma ne bamutta.

Genda 703x422

Fireman Ronald eyattiddwa.

Ronald Sebunnya amanyiddwanga ‘Fireman’ kigambibwa nti yawambibwa ku Lwamukaaga oluwedde ne bamusiba emiguwa emikono n’amagulu oluvannyuma omulambo gwe ne bagusuula e Nama mu Mukono.

Maama we Hanifah Nalukwago yategeezezza Bukedde nti, mutabaniwe abadde abeera Kasubi wabula ng'emirimu gye agikolera mu kifo kya MURS Country Resort.

“Omwana wange yasemba okulabibwaako ku Lwamukaaga ku ssaawa 6:30 kyokka twewuuba ku poliisi y’e Seeta ne Mukono, nga batugamba nabo tebamanyi mayitire ge,” Nalukwago bw’agamba.

Yagasseeko nti bwe baabadde bakyanoonya ne bafuna amawulire nti, waliwo omulambo gw’omusajja ogwasuuliddwa mu kasiko akasangibwa e Nama.

“Twasituse ne tutwalira poliisi ekifaananyi kya Sebyunnya, era oluvannyuma lw’okukyetegereza ne batukakasa nti ye ye olwo amagezi ffenna ne gatwesiba", Nalukwago bwe yayongeddeko.

Kigambibwa nti ono olunaku lwennyini lwe baamuwamba era lwe baamutta kubanga famire ye egamba yasemba okumulaba ku ssaawa 6:30 kyokka omulambo gwe poliisi n’eguzuula ku lunaku lwe lumu ku ssaawa 9:30.

Waliwo omukazi agamba nti yalaba mmotoka eyaabuyonjo nga njeru, eyalimu abasajja nga balina ebintu bye baali basuula mu kasiko kyokka n’atakifaako nnyo kyokka baali bagenda n’agenda alabe kye baali basudde okwetegereza nga mulambo gwa muntu, bw’atyo n’atemya ku poliisi eyajja n’eguggyawo.

Mu ngeri eyeewuunyisa, omulambo tegwaliko bisago byonna wabula ng’emikono n’amagulu byali bisibiddwa emiguwa.

Kiteeberezebwa nti, waliwo abantu ababadde bamutiisatiisa okumutta entabwe ng’eva ku bya mulimu wabula poliisi yatandise dda okulondoola ensonga eno.

Kigambibwa nti omwaka oguwedde, omugenzi yafunamu obutakkaanya ne bakozi banne bwatyo n’asuulawo omulimu era ekifo kye ne bakifuniramu omuntu omulala, kyokka oluvannyuma bakama be baamukubira essimu ne bamukomyawo ku mulimu, era awo empalana ku mulimu ne yeeyongera.

Poliisi e Mukono oluvannyuma yawadde abooluganda ebbaluwa ne bagenda ku ggwanika e Mulago ne babawa omulambo gw’omuntu waabwe nga n’enteekateeka z’okumuziika ku biggya bya bajjajjaabe e Kiwoko - Luweero, bwe zigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze