TOP

Katikkiro wa Bungereza bamukase okulekulira

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi mu wiiki bbiri okuva olwaleero.

Theresamay 703x422

Theresa May ng'akulukusa amaziga

Theresa May yajegemedde eddoboozi n’ajja n’ebiyengeyenge ng’alangirira nti alemeddwa okumatiza Palamenti ku nteekateeka eya Bungereza okuva mu butongole mu mukago gwa Bulaaya kyokka byonna ne bigaana, kwe kusalawo okulekulira.

Bannansi ba Bungereza baakuba akalulu mu 2016 ne basalawo okwabulira omukago gwa Bulaaya, Katikkiro eyaliko David Cameron yali tawagira kya kwabulira mukago n’asuubiza nti bannansi bwe basalawo okuguvaamu ng’alekulira wasobole okujja Katikkiro omulala anaabaga ekkubo eribafulumya.

Wano May weyeesowolerayo n’alondebwa mu 2016. May yasabye bamukkirize amale okwaniriza Pulezidenti wa Amerika Donald Trump, asuubirwa mu ggwanga lino mu June ono n’oluvannyuma aweeyo ofiisi.

Oluwaayo ofiisi waakusigala ng’aweereza ng’omukulembeze wa Conservative Party ng’okuvuganya ku baagala okudda mu kifo kino kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze