TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yeefudde mmo okubba abagagga mu bbaala bamukutte

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga mu bbaala bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba kalifoomu n’ababbako ebintu byabwe.

Sula 703x422

Aine Mbabazi nbga bw'afaanana

Jackie Aine Mbabazi, 23, ng’abeera Mukono ewa Wantoni yakwatiddwa poliisi ng’eyita mu kitongole kyayo ekirwanyisa abazigu ekya Flying Squad oluvannyuma lw’omu ku basajja eyamukwanira mu bbaala emu e Mukono n’amutwala ewuwe okuggulawo omusango nga bwe yamubba ebintu by’omu nnyumba n’abula mu December wa 2018.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Aine Mbabazi agenda nnyo mu wooteeri n’ebbaala ez’ebbeeyi ne yeekukuutiriza ku basajja okumukwana wabula ng’alina ekigendererwa ey’okubabba.

Kigambibwa nti abalabiriza n’abateera kalifoomu mu byokunywa n’ebyokulya olwo bwe beebaka ng’ababba byonna bye balina.

“Tuzze tufuna okwemulugunya okuva mu basajja ab’enjawulo nti waliwo omukazi gwe basanga mu bbaala ez’ebbeeyi ne wooteeri ne bamukwana wabula ebiddirira beesanga nkeera nga babbiddwa oluvannyuma lw’okukubwa kalifoomu,” Onyango bwe yagambye.

Yagambye nti omusajja w’e Mukono yamubbako by’omu nnyumba okuli laptop, essimu ya I phone, ssente enkalu eziwera obukadde 4 n’ebintu ebirala. Yaggulawo omusango oguli ku fayiro SD 34/118/12/2018.

Yategeezezza nti okukwata Aine Mbabazi poliisi yazzeeyo ku bbaala e Mukono ne bafuna ebifaananyi ebyakwatibwa kkamera ne babyekenneenya n’ekizuula ng’omuwala yagenda n’omusajja ate n’amubba era bwe baalondodde essimu ye n’asangibwa e Kisaasi.

Yagasseeko nti Mbabazi alabika alina b’akolagana nabo okuli baddereeva ba mmotoka abamuyamba okusomba ebintu by’abba mu maka g’abasajja.

Yagambye nti ekyewunyisa Aine Mbabazi alina essimu wabula yateekamu ennamba z’abantu 8 bokka era tewali yaamukubiddeko okuva lwe yakwatiddwa.

Onyango yayise abasajja abaali banyagiddwa Aine Mbabazi bagende ku poliisi eyongere okufuna obujulizi obumuluma.

Abamu ku bawala abazze bakwatibwa olw’okukuba abasajja kalifoomu kuliko Fatuma Katushabe ne Zaituni Kemigisha nga bano bali mu kibinja ekikuba abavuzi ba bodaboda kalifoomu ne bababba nga baakwatibwa poliisi y’e Kabalagala mu 2015.

Joweria Kaweesa ne Rachael Orushaba nabo baakwatibwa mu 2016 ku by’okukuba abavuzi ba bodaboda kalifoomu ne bababbako pikipiki zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...