TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abakola mu bbanka gye babba ssente ku akawunti za bakasitoma

Engeri abakola mu bbanka gye babba ssente ku akawunti za bakasitoma

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta y’omu ku bagagga b’omu Kampala, ezudde ngeri abakozi ba bbanka ez’enjawulo gye beekobaana ne basomola ssente ku akawunta za bakasitooma naddala abatereka obutitimbe ku akawunta zaabwe.

Funa1 703x422

Nashiba Naiga

Ensonda mu kitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku misango egy’ebyenfuna, ekya Division of Economic Fraud and Anti-Corruption nga kiri wansi wa Directorate of Criminal Investigation & Crime Intelligence, zaategeezezza nti waliwo ebibinja by’abamenyi b’amateeka nga bakozi ba bbanka ez’enjawulo abalina obukodyo obw’okubba ssente za bakasitooma mu ngeri ey’ekikugu n’amagezi amangi ennyo era omuwala oyo Naiga ateeberezebwa okubeera mu kibinja ekyo.

Era kizuuliddwa nti oluusi abamu ku bakozi b’omu bbanka bakolagana n’abafere be babuulira kalonda akwata ku akawunti z’abagagga wamu n’ebitongole okubeera ensimbi ennyingi, olwo abafere ne basala amagezi okuziggya ku akawunti zino nga bakolagana n’abakozi b’omu bbanka ne bazigabana.

Mu Uganda, omusango gw’obuwumbi obuna mu obukadde 600, ezabbibwa ku akawunti y’Abasudani mu bbanka ya Equity, gwe gukyasinze okwewuunyisa abantu, ne Pulezidenti Museveni ensonga yaziyingiramu butereevu.

OBUBBI OBUZZE BUBAAWO

Mu March ne May, 2015, ensi yawuniikirira oluvannyuma lw’obuwumbi bwa ssente buna mu obukadde lukaaga (Sh4.6bn) okubbibwa okuva ku akawunti mu bbanka ya Equity ku ttabi lya Oasis mu Kampala.

Poliisi yakwata maneja avunaanyizibwa ku bikwekweto mu bbanka ya Equity ayitibwa David Serwamba ne banne abalala okuli; Moses Kavuma, Reagan Okoth, Abubaker Kalungi, Mubarak Shafik, omusuubuzi Mathew Keeya ne ddereeva Isaac Serwamba, nga kigambibwa bano olukwe baalulimu butereevu.

Okunoonyereza kwalaga nti nga, March 28, 2015, mu ngeri y’olukujjukujju, maneja Serwamba, ne bakozi banne baggya doola emitwalo 70, okuva ku akawunti ya munnansi wa South Sudan, Sissco Mabior Makom ne munne Mabior Achang Ajalg, ate enkeera ne doola endala emitwalo 50 n’endala 250 nazo ne baziggyako.

Ekyewuunyisa, eyali akulira okunoonyereza ku musango guno, Charles Kataratambi era nga ye yali akulira ekitongole kya poliisi ekya ‘Special Investigations Division’, naye yatandika okunoonyerezebwako n’abamu ku baserikale be, ku bigambibwa nti, yeddiza emitwalo gya Doola 45, mu za Uganda akawumbi kamu mu obukadde bisatu (Sh1.3bn) ezaali ez’ekizibiti kyokka n’azeegabanya n’abamu ku basajja be.

Kigambibwa nti maneja wa bbanka ya Equity avunaanyizibwa ku bikwekweto, Moses Ebitu, ye yatwala omusango ku SID e Kireka ku fayiro nnamba E/078/15, nga yeemulugunya ku ngeri doola emitwalo 45, gye zaali ziggyiddwa ku akawunti ya bannansi ba South Sudan.

Kataratambi yawummuzibwa ku mulimu oluvannyuma lw’ab’ekitongole kya Poliisi ekikwasisa empisa ki Professional Standards Unit (PSU) okumuggulako emisango n’abaserikale be abalala.

Ng’akolera ku biragiro bya Pulezidenti, SCP William Kototyo, okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli, yakulemberamu ekikwekweto ky’okwaza amaka ga Kataratambi wamu ne basajja be abalala basatu okwali; Alex Kabanda, Solomon, ne Eddie.

Kigambibwa nti akulira bbanka ya Equity, James Mwangi ye yeekubira enduulu ewa Pulezidenti Museveni, okuyingira mu nsonga zino.

Mu kikwekweto kino, poliisi yazuula doola emitwalo 3, nga bwe bukadde 78, mu za Uganda, okuva mu maka ga Kataratambi agasangibwa e Buziga. Poliisi yakwata emmotoka ey’ekika kya Toyota Prado, entebe za sofa, wamu ne ttivvi, ebyasangibwa mu maka ga Kabanda ne banne, abagambibwa nti, baali mu lukwe lw’okubba ssente .

ABAKOZI BA BBANKA BABASIBA:

Eyali Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake (Anti-Corruption Court) Margret Tibulya, yakaliga Abubaker Kalungi emyaka 12, David Sserwamba ne Mathew Keeya, emyaka kkumi buli omu, ate Reagan Okoth ne Sharfik Mubaraka, n’abasiba buli omu emyaka 5.

Wabula Omulamuzi yeejjeereza Isaac Serwamba, eyali muto wa David Sserwamba, olw’okusangibwa n’obukadde 250, muganda we ze yali amuteresezza nga tamanyi nti zaali kitundu ku buwumbi obuna n’obukadde 600, ezaali zibbiddwa okuva ku akawunti mu Equity bank.

Ng’oggyeeko eky’okubasiba, omulamuzi bano era yabalagira okusasula Equity bank doola 2000, 2500, ne 5000, era n’alagira emmotoka n’ebyapa by’ettaka ebyali byaboyebwa ku baakwatibwa bitundibwe ssente ziddizibwe bbanka.

Ebyo nga bikyali awo, mu February, 2019, Poliisi y’e Wandegeya yakwata eyaliko omukozi wa bbanka ya DFCU ayitibwa Faisal Bahati, olw’okubba ssente obukadde 133, okuva ku akawunti z’ekibiina ky’abaasomerako mu ssomero lya Nyakashura, erisangibwa mu disitulikiti y’e Kabalore.

Okunoonyereza kwalaga nti Bahati yakozesa olukujjukujju n’aggya ssente zino ku akawunti ez’enjawulo okuli eya DFCU namba 3201669577 (obukadde 98), eya Centeneray-01011114623702, (obukadde 30) ne Equity bank namba-1001201067509, (obukadde 5) Abantu boogedde Phiebe Lukunse; Obukuumi buleme kubeera ku miryango egiyigira bbanka gyokka naye n’abakozi balondoolwe okuviira ddala nga baakayigira mu bbank n’engeri gye bakolamu emirimu gyabwe.

Dan Ushe Katende; Amazima bubeera bulagajjavu bw’abantu.

Kikwasa ensonyi omuntu obutagoberera bikwata ku akawunti yo n’omala ebbanga eriwera nga togenzeeko mu bbanka kulaba nga bweyimiridde ekiwa omwagaanya bakyala kimpadde okubba ensimbi zaabwe.

Mahad Twaha Nakawa; Bbanka zandifuddeyo nnyo nga ziwa emirimu abantu abasaanidde okubakolera ate nga balina obumanyirivu n’obwesigwa olw’ensonga nti babeera bakwata ssente z’abantu nnyingi.

Ben Katende; Abantu abasinga emirimu gye bakola tebalina bumanyirivu bwonna ekibakwasa amabbabanyi ne babba ensimbi olw’ensonga nti zibeera nnyingi.

Kino kirina okutunulwamu ennyo eri ababawa emirimu okusobola okumalawo omuze guno.

Bbanka ya DFCU oluvannyuma yavaayo n’etegeeza nti Bahati ne banne abalala babiri okuli; Saidi Ddamulira ne Philbert Aijuka, baali baabagoba nga tebakyali bakozi baabwe.

KASHOMA AKWATIBWA:

Mu October, 2008, abebyokwerinda baakwata Justus Kashoma, ng’aliko ssente z’eyaggya ku akawunti emu okuva ku ttabi lya bbanka ya Stanbic erya Garden City.

Ono yasangibwa lubona ng’aggyayo obukadde 500, n’endala akawumbi kamu n’ekitundu.

Mu kwewoozaako yategeeza nti waliwo mukwano gwe Omocongo eyazimusindikira oluvannyuma lw’okukutula ddiiru bombi.

Mu January wa 2007, poliisi mu Kampala, yakwata abakozi ba bbanka ya Stanbic musanvu okuli; maneja Jennifer Wanyama, James Sempebwa, Joseph Bwire, n’abalala, nga kino kyaddirira okubbibwa kwa ssente obukadde 720, okuva ku ttabi lya IPS.

Kigambibwa nti zaababbibwaako abantu basatu abaali bambadde ng’abakozi ba bbanka eno, wabula nga baalina emmundu.

Bano okukwatibwa kyateeberezebwa nti olukwe nabo baalulimu.Mu December 2013, Poliisi yakwata omukozi wa bbanka ya Centenary, Charles Kalumba oluvannyuma lw’okuzuula nti i yeekobaana ne Julius Kyeyune Mitala, ne babba ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kalamba.

Mu July 2013, Poliisi yategeeza nti obubbi bwa ssente ku byuma bya ‘ATM’ nabwo bweyongera mu bbanka ez’enjawulo.

Kino poliisi ekissa ku bulagajjavu bw’abantu abamu abatakuuma nnamba z’ekyama.

ENGERI SSENTE GYE ZIBBIBWAAMU:

Kigambibwa nti bbanka nnyingi mu Uganda ezirina ekizibu kya ssente z’abantu ezibbibwa ku akawunti zaabwe kyokka basirika olw’okutya bakasitoma okudduka.

Okunoonyereza kulaga nti obubbi obusinga bubeeramu abaaliko oba abakozi ba bbanka zino.

Kizuuliddwa nti waliwo abantu abafa ne baleka ssente ku akawunti zaabwe kyokka ng’abenganda zaabwe tebamanyi abakozi ba bbanka ne bazezza.

Kigambibwa nti waliwo bbanka ezimu eziggya ssente z’abantu ku akawunti zaabwe ne baziwola abantu mu nkola emanyiddwa nga ‘Night lending’ kyokka nnannyini ssente bw’akizuula nga bamwetondera era nga ssente ze bazizzaako ku akawunti ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze