TOP

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa abantu ku mateeka.Olukung'aana luyindira ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area ng’okuyingira kwa bwereere.

Whatsappimage20190525at121446 703x422

Buli muntu waakufuna omukisa okwanja ensonga ye eyeekusa ku mateeka omuli n’abalina emisango gye balowooza nti tegikwatiddwa bulungi era baddibwemu abakulira ebitongole by’amateeka eby’enjawulo.

Abakugu okuva mu bitongole eby’enjawulo ebikwatibwako ensonga z’amateeka bagenda kulung'amya n’okwanukula abantu ku nsonga ezibaluma.

Muno mulimu Poliisi, Abawaabi wa Gavumenti (DPP), ekitongole ekiramuzi, ab’eddembe ly’obuntu, ebibiina by’obwannakyewa, ebibiina ebiwa abantu obuyambi mu by’amateeka ku bwereere n’ebiwolereza abantu mu kkooti ku bwereere.

Abantu mwenna mwanirizibwa okujja okubeerawo musomesebwe era mubuuze ebibuuzo bye mwagala kyokka atasobodde kutuukawo olina omukisa okubeera ng’olaba ebigenda mu maaso ku Bukedde TV, Bukedde fm n’emikutu gya Vision Group emirala.

Entegeka eno eri wansi w’entegeeragana eyatuukibwako wakati wa Vision Group ng’ekolagana n’ekitongole kya Democratic Governance Facility (DGF) okulaba ng’abantu bafuna obwenkanya mu nsonga z’amateeka n’okubayamba okwanguyirwa okufuna obwenkanya.

Essira liteekeddwa nnyo ku bantu abanyigirizibwa naye nga tebalina we bayisa ddoboozi lyabwe, era emikutu gya Vision Group gyasalawo okuwa abantu abo eddoboozi bawulirwe.

Abeebitongole eby’enjawulo bagenda kulung’amya abantu ku mitendera emituufu mwe basobola okuyita okugoberera emisango gyabwe oba ensonga ebaluma okukakasa nti eggusibwa, bafune obwenkanya.

Abaagala okuwaayo okwemulugunya kwammwe, muweebwa amagezi okutuuka ku ssaawa 5:00 ez’oku makya ku Lwomukaaga luno nga May 25, 2019.

Richard Kayiira akulira pulojekiti eno yagambye nti ekigendererwa mu nteekateeka eno, kwongera kuwa bantu baabulijjo omukisa okusisinkana abantu abasobola okubalung’amya ku kusoomoozebwa kwe bayitamu mu by’amateeka n’eddembe lyabwe ate n’okubasomesa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi

Kayihura1 220x290

'Eby'okutta Kaweesi byandeetera...

GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n’ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi,...