TOP

Batadde kkamera 200 e Namugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200 okwetoloola ebifo byonna abalamazi gye banaabeera.

Kasirye1 703x422

Abakozi nga bawanika kkamera e Namugongo.

Rev. Fr. Vincent Lubega, bwanamukulu w’e Namugongo yategeezezza nti ku luno nga bali wamu n’abeebyokwerinda bamyumyudde ebyokwerinda.

Yannyonnyodde nti waliwo ebibinja by’abavubuka abakozi b’effujjo n’abanyazi abayingira e Namugongo n’ekigendererwa eky’okubba abalamazi.

“Twagala okumalawo ekizibu kino kuba abantu bangi abasigala wano oluvannyuma lw’okulamaga nga bagamba nti babbiddwaako ebyabwe n’ensimbi enkalu.”

Yagambye nti ku luno kkamera zissiddwa mu bifo ebyenjawulo okwetoloola ebiggwa byonna mu bifo ebirabika n’ebitalabika.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yategeezezza nti ekibawalirizza okwongerako kkamera kwe kuba nti abalamazi beeyongedde obungi era nabo beetaaga okwongeramu amaanyi.

Yagambye nti ebikolobero bingi ebikolebwa munda omuli okunyakula amasimu, obubinja bw’abavubuka abamenyi b’amateeka nga B 13 baalabibwako omwaka oguwedde nga batulugunya abantu byonna bagenda kuba babirabira ku kkamera olwo babakwate.

Yagambye nti newankubadde waliwo abakuumaddembe bangi omuli n’abali mu ngoye eza bulijjo naye ku luno poliisi eyagadde kkamera zigiyambe okulaba eriiso we litatuuka.

Mu ngeri yeemu abakola ku byokwerinda era balabiddwaako nga bawanikayo ebyuma ebikola ku mayengo g’ebyempuliziganya okusobola okukakasa nti buli kye bakola kitambula bulungi.

Emiryango egiyingira mu Basirika nagyo gisiddwaako ebyuma okutangira abantu abayingiza ekifuba munda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...