TOP

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2019

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako okutaasa munne abadde alemereddwa okuwuga ng’alaba amazzi gamutwaala kwe kugwawo amuyambe wabula ne gamusinza amaanyi ne gamutwala.

Note 703x422

Abatuuze nga bakuhhaanye ku mugga omwana we yabbiddemu.

Gw’abadde ayamba yeekutte ku bisubi nga bw’akuba enduulu era abaabadde bazze okusennya enku bebaamuyambye era ye yabategeezezza nti munne gamututte.

Gift Bugulwa 12, eyabbidde, nnyina ye Christine Nafula ow’e Nakalasa- Kibaati mu ggombolola y’e Nagojje mu Mukono so nga kitaawe ye Alex Kayanja ali ku kyeyo e Saudi Arabia.

Ssentebe w’ekyalo, Francis Taabu yakakasizza okubbira kw’omwana ono.

Maama w’omwana agamba nti teyategeddeko nti omwana we yabadde agenze kuwuga okutuusa abantu bwe bazze okumutegeeza ng’amazzi bwe gamututte.

Abatuuze baayise poliisi okubayambako kyokka abaserikale bwe baatuse nga tebalina kintu kyonna ne babavuma nga kyavudde ku baserikale nabo okubabuuza nti kiki kye baagala babakolere bo kye batasobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi