TOP

Palamenti eyisizza bajeti ya 2019/20

By Kizito Musoke

Added 25th May 2019

PALAMENTI eyisizza bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2019/2020 nga ya Tuliliyooni 40 (Bwe buwumbi emitwalo ena) kyokka ng’ezisinga zisuubirwa kuva mu misolo egikung’anyizibwa mu ggwanga.

Buget 703x422

Minisita Kasaija n’ensawo ya Bajeti mu June 2015.

Bajeti eyayisiddwa mu bujjuvu ya buwumbi 40,480, kyokka ng’ebitundu 75 ku buli 100 zigenda kukuhhaanyizibwa okuva mu misolo egikuhhanyizibwa munda mu ggwanga ate ebitundu ebisigadde 25 zive mu bagabi b’obuyambi n’amawanga g’ebweru.

Bajeti eyasomeddwa esuubirwa okusomerwa eri eggwanga mu bujjuvu nga June 13, 2019 ate ebinaaba biyisiddwa bissibwe mu nkola okutandika nga July 1, 2019.

Wadde nga tewali misolo mingi gy’aleeteddwa kyokka waateereddwaawo amakubo amapya agagenda okweyambisibwa okulaba ng’abantu basasula emisolo mu budde. Eby’ensasula y’emisolo byalambikiddwa mu ‘Tax (Amendment) Bill, 2019’ gavumenti mwe yatadde amakubo g’egenda okukozesa okulaba ng’enkung’anya ssente zeeruubirira.

Omuntu yenna okufuna layisinsi okuva mu kitongole kya Gavumenti kyokka, kigenda kuba kyetaagisa okusooka okulagayo TIN nnamba. Y’ennamba eyamba okulondoola engeri omuntu gyasasulwamu emisolo nga kigendereddwaamu okugaziya emisolo ku bantu abakola bizinensi kuba babeera balina okuzizza obuggya buli mwaka.

Omusolo ku nnyumba z’abapangisa ogwa ‘rental property’ gusuubirwa okwongera okussibwa mu nkola, wadde nga wakyaliwo okusoomoozebwa okuva mu bannanyini mayumba abaguwakanya ennyo.

Omuntu yenna anaalemwa okusasula omusolo gw’ebintu ebikolebwa mu ggwanga (Exercise Duty) mu budde ateereddwaako engassi ya bitundu bibiri ku buli 100. Etteeka eribaddewo engassi babadde baagiteeka ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga.

Omuntu yenna eyeewaayo nga yeeyagalidde n’ategeeza nga bw’abadde tasasula musolo bamuwadde ekisonyiwo. Kyokka kino alina kukikola nga tannaba kukwatibwa kitongole kiwooza ky’emisolo ekya URA.

Etteeka litaddewo omusolo gwa 100,000 eri bbanka zonna bwe ziba zigaba yinsuwa eri abantu abeewola ssente.

Enkola y’okuwola abantu ssente nga bakozesa enkola ya Islamic Banking we bawolera abantu ssente okutali magoba yaakussibwa mu nkola.

MINISITULE Y’EBYENGUUDO N’EBY’OKWERINDA ZIFUNYE NNYO

Minisitule y’ebyenguudo ye yasinze okufuna omutemwa omunene mu bitongole bya Gavumenti byonna nga yaweereddwa obuwumbi 6400 nga bye bitundu 16 ku buli 100 ebya ssente zonna eziri mu bajeti.

Ebyokwerinda by’eggwanga nga bwe kyali omwaka oguwedde bye byazzeeko n’obuwumbi 3610 nga zikola ebitundu mwenda ku buli 100.

Minisitule y’ebyenjigiriza ye yakutte eky’okusatu nga yafunye obuwumbi 3280. Ebyamasannyaze n’ebyobugagga by’omuttaka obuwumbi 2,950. Ebyobulamu baabiwadde obuwumbi 2,500 ate ebyobulimi obuwumbi 1,400

Ababaka baalinyisizza ssente z’ebyobulimi okuva ku buwumbi 892 ze byafuna omwaka oguwedde okutuuka ku buwumbi 1 400. Kyokka abantu abamu bagamba zikyali ntono kuba ebyobulimi kwe kuyimiridde ebyenfuna bya Bannayuganda abasinga.

Minisitule ya Gavumenti z’ebitundu yafunye obuwumbi 1,262 . Ebyobulambuzi byaweereddwa obuwumbi 157, ebyobusuubuzi n’amakolero obuwumbi 171. Minisitule y’ebyettaka yaweereddwa obuwumbi 193, ebyamazzi n’obutonde bw’ensi obuwumbi 1,042.

Minisitule y’ebyatekinologiya n’okulung’amya eggwanga bye byasinze okufuna ssente entono nga ziwera obuwumbi 123.

Amos Lugoloobi (Ntenjeru North) mu lipooti ya bajeti gye yayanjulidde palamenti yalaze nti emisoso gy’okukola bizinensi gikyali waggulu olw’ebbeeyi y’amasannyalaze, emisolo, amagoba g’okwewola byonna ebiri waggulu.

Ssente z’okwongeza emisaala gy’abasomesa tezaateekeddwa mu bajeti y’omwaka ogujja, wakati ng’abasomesa bawera nga bwe bagenda okussa wansi ebikola.

LIPOOTI Y’ABABAKA BATONO

Mu kiseera kye kimu ababaka abatuula ku kakiiko ka bajeti abatakkiriziganyizza na lipooti eyakoleddwa ababaka abangi baayanjudde lipooti eyaabwe.

Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi (Butambala) ye yayanjudde lipooti eno ng’eriko emikono gy’ababaka basatu okuli; Kivumbi, Cecilia Ogwal (mukazi/Dokolo) ne Joy Atim Ongom (mukazi/Lira) ne balaga obweraliikirivu olw’engeri Gavumenti gy’esussizza okwewola ssente. Baasembye eddwaaliro ly’e Mulago liweebwe obuwumbi busatu n’ekitundu zeeyambisibwe okutumbula embeera y’ekifo kya Kazolite awatuukira abalwadde abali mu mbeera embi.

Baasembye obuwumbi obuwera 109,206 ziteekebwe mu nsawo y’okukulaakulanya abavubuka eya Youth Livelihood Programmwe kisobole okuyamba okumalawo ebbula ly’emirimu.

Baawabudde ku nkola ya Gavumenti ey’okwagala okulinnyisa emisaala gy’abakozi abamu ne bagamba kiraga okusosola. Bwe waba tewali ssente zimala kisaanidde okusooka okulindako okutuusa ng’ezongeza bonna zifunise.

Baawabudde nti ssente eziba tezikozeseddwa ku nkomerero y’omwaka ne ziddayo mu ggwanika lya Gavumenti, zeetaaga okuteekako akakiiko akazibuulirizaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi