TOP

Vision Group etongozza okusimba emiti

By Joseph Makumbi

Added 26th May 2019

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde etongozza kkampeyini y’okusimba emiti akakadde kalamba okutaasa obutonde bw’ensi.

Simba 703x422

Akulira Vision Group, Robert Kabushenga ng’annyonnyola.

Enteekateeka eno, yalangiriddwa akulira Vision Group, Robert Kabushenga ku Lwokuna n’agamba nti, buli muntu omuti gw’agenda okusimba, agenda kugusimba ku lwa muzzukulu we.

Yannyonnyodde nti, mu bbanga lya myaka 20 mu maaso, emiti egigenda okusimbibwa gijja kubeera mikulu ddala omugigi gw’abazukkulu we gunaatuukira.

Yagambye nti, baagala okusimba ebika by’emiti binnansangwa omuli ffene, emivule, emigavu n’ebika ebirala.

Kabushenga yagambye nti, waliwo engeri ssatu omuntu z’asobola okuyitamu okwenyigira mu nteekateeka eno.

Esooka kwewandiisa mu nteekateeka eno okufuna emiti egy’okusimba, okuwaayo ssente okuva ku mutwalo n’okwambuka waggulu okuyambako mu nteekateeka eno oba okukola byombi.

Yagambye nti, eggwanga liweddemu emiti olw’abantu abagitema okwokya amanda, abasennya enku, abazimba n’abasala embaawo n’agamba nti, okusobola okutaasa eggwanga ku kasambattuko akayinza okugwawo mu bbanga lya myaka etaano gyokka mu maaso, kwe kusimba emiti.

Mu kino, Kabushenga yagambye nti, beetaaga abantu abookukwatagana nabo okusobola okutuukiriza enteekateeka eno gye yagambye nti yatandikiddewo ku Lwokuna.

Yakubirizza Bannayuganda abali e Bulaaya ne mu nsi z’Abawarabu okwenyigiramu.

“Osobola okugulira muliraanwa wo mu kyalo emiti naagikusimbira.” Kabushenga bwe yategeezezza ng’akubira Bannayuganda abali ku kyeyo omulanga.

Yagambye nti, emyezi etaano ku mukaaga egisooka, bagenda kubeera ku mutendera ogw’okumeza ensigo oluvannyuma batandike okugaba emiti mu bantu abanaaba beewandiisizza batandike okusimba bwe kinaaba kiwedde, bajja kulaba bwe bongerayo enteekateeka eno.

“Twakikolako emabega naye obuzibu bwe twafuna, twalina abantu nga basinga endokwa z’emiti obungi. Ku mulundi guno, twagala endokwa zibeere nnyingi okusinga abantu,” Kabushenga bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, baasazeewo okusimba emiti nnansangwa lwa nsonga girwawo okukula era gigya bulungi mu nteekateeka gye batuumye ‘Simba omuti ku lwa muzzukulu wo’.

“Twagala omuntu asimbe emiti egiwera nga ne bwe baba batemyeko gumu emirala emingi gisigalawo.” Kabushenga bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, bagezaako okwogerezeganya n’aba National Forestry Authority (NFA) abavunaanyizibwa ku ttaka ly’ebibira mu ggwanga okulaba oba basobola okubawa ettaka ly’ebimu ku bibira ebyasaanyizibwawo basobole okubizzaawo.

Yagasseeko nti, Vision Group omuli Bukedde, New Vision, Bukedde TV ne Radio n’emikutu emirala, bajja kufulumya olukalala lw’emiti egiteekeddwa okusimbimbibwa abantu mwebanaalonda emiti gye baagala okusimba bagisabe basobole okugibawa.

“Emiti ge mazzi gaffe, bwe tubulwa enkuba, tujja kufa enjala.” Kabushenga bwe yagambye.

Kabushenga asabye abaagala okusonda ssente mu nteekateeka eno, mukozese enkola zino wammanga:

Mobile Money

  • MTN Mobile Money, Londako ‘Payments, owandiike NV3
  • Airtel Mobile Money Londako ‘Payments ozzeeko Merchant Code 600006

    Banka akawunti
  • Stanbic Bank: mu mannya ga; New Vision Printing and Publishing Company Limited A/C 9030005950421.
  • Standard Chartered Bank: Mu mannya ga; New Vision Printing and Pubishing Compay Limited A/C 0105610690400

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...