TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka beeyongezza ensimbi mu bajeti ya 2019/2020 enaatera okusomwa

Ababaka beeyongezza ensimbi mu bajeti ya 2019/2020 enaatera okusomwa

By Muwanga Kakooza

Added 26th May 2019

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa mu June omwaka guno ababaka baataddemu obuwumbi 102 ng’ensako yaabwe ng’eriko n’ensimbi z’ebyentambula.

Gamba 703x422

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa mu June omwaka guno ababaka baataddemu obuwumbi 102 ng’ensako yaabwe ng’eriko n’ensimbi z’ebyentambula.

Kino bagamba baakikoze lwa beeyi y’amafuta kulinnya.Minisitule y’ensimbi yabadde etadde obuwumbi 39 nga za nsako yabwe n’endala obuwumbi 20 za za kutegeka lukung’ana lwa palamenti z’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza.

Kyokka oluvannyuma lw’ababaka okwekenenya bajeti  ekyali mu bubage basazeewo okugya obuwumbi 63 ku bintu ebirala ebigirimu ne bazissa ku nsako yabwe nga kino kyayongezza ensako yabwe n’etuuka ku buwumbi 102.

Era kino kyongeza bajeti ya palamenti okuva ku buwumbi 497 ezibadde ez’omwaka 2018/19 ne zituuka ku buwumbi 688 ezigenda okukozesebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogutandika mu June 2019.

Ensonda zaagambye nti ensimbi z’entambula zaayongezeddwa lwa bbeeyi y’amafuta kulinnya kuva ku 3,500/- buli liita kudda ku 4,500/-.

Ensimbi z’ensako y’ebyentambula zijja kugabwanga okusinziira ku bunene bw’olugenda omubaka lw’atambula okuva e Kampala okutuuka mu bantu b’akiikirira.

Ensonda  era zaagambye nti minisitule y’ebyensimbi teyakkiriziganyizza na kweyongeza kuno.

Mu mateeka Palamenti ye yagerekera emisaala n’ensako ng’egamba nti kino  ekikola lwa kuba teyagala kubeera mu nkwawa za gavumenti. Ebitongole bya gavumenti ebirala byonna gavumenti y’ebigerekera emisaala.

Ssentebe w’akakiiko ka palamenti aka bajeti, Amos Lugoloobi yagambye nti bajeti ya palamenti yabaddemu ettuli lye babade bazibikira.

Wabula ebimu ku bibiina by’obwanakyeya bino tebyakisanyusizza era bikkukkuluma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.