TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera okusinga ag'obwanannyini - Babaka

Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera okusinga ag'obwanannyini - Babaka

By Muwanga Kakooza

Added 26th May 2019

ABABAKA ba palamenti balaze okutya olw’eddwaliro ly’e Mulago eppya erya gavumenti erijjanjaba abakazi okuba nga liseera n’okusinga amalwaliro g’obwanannyini ne bawa eky’okulabirako nti okuzaalisa omukazi (atalongooseddwa) omuntu asasula wakati w’emitwalo 80 n’akakadde kamu n’ekitundu.

Mulagospecialisedwomenandneonatalhospital3 703x422

Ng’ate omukazi alongoseddwa mu ddwaliro lino erimanyiddwa nga ‘’ Mulago Specialized Women and Neonatal Hospital’’ omuntu asasula wakati w’obukadde bubiri n’obusatu ze bagamba nti zino nnyingi bw’ogerageranya n’ezisabwa amalwaliro g’obwanannyini.

Baawadde amgezi eddwaliro lino lifune omwaliro okusobola okujanjabirwa Bannayuganda abatalina busobozi busasula ssente zino.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu ekwata ku bajeti ya 2019/20.

Ababaka bagamba nti abantu abajjanjabirwa mu ddwaliro lino bakutulwamu ebiwayi bisatu ng’ekimu kya Silver, VIP ne VVIP era kuno kwe kusinziirwa okusasulirwa abantu ssente ez’okusasula wabula nga kiggya enviiri ku mutwe nti bwogerageranya n’amalwaliro g’obwanannnyini agamu Mulago omupya owa gavumenti aseera nnyo.

Mu ngeri y’emu ababaka  bawadde gavumenti amagezi okutandikawo ebifo awajanjabirwa abatabufu b’emitwe ku malwaliro amanene gonna kitangire omujjuzo oguli mu ddwaliro erimu lyonna erijanjaba obulwadde buno e Butabika.

Eddwaliro ly’ Butabika kyategezeddwa nti lijanjaba abalwadde 1,000 nga ku bo 850 be basula mu ddwaliro lino eririna okusulwamu abalwasse 550 bokka.Eddwaliro era lijanjaba abalwadde abava okumpi nalyo ababa tebetaaga kusuzibwamu nga ssi balwadde nnyo.

Ababaka basabye omusala gw’abasawo abalimu kutendekebwa mu malwaliro ga gavumenti gonna (intern Doctors) gwongezebwe okutuuka ku 1,500,000/=.

Mu kifo awanoonyerezebwa ku kawuka ekya ‘Uganda Virus Research Insitute’ e Ntebe ababaka basabye gavumenti ekifunire obuwumbi bubiri ez’okukiddaabiriza.

N’obukadde 250 ez’okuzimba ekifo awasobola okwokerwa ebintu ebiteetagisa mu ddwaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze