TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza okuzimba amasomero n'etatuukiriza

Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza okuzimba amasomero n'etatuukiriza

By Muwanga Kakooza

Added 26th May 2019

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo kyayo eky’okuzimba essomero lya siniya n’eddwaliro mu buli ggombolola eri mu Uganda.

Educationpanel703422 703x422

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza  ekisuubizo kyayo eky’okuzimba essomero lya siniya  n’eddwaliro    mu buli ggombolola eri mu Uganda.

Ababaka bagamba nti gavumenti emaze emyaka egisoba mu musanvu ng’esuubiza okuzimba essomero lya siniya wakiri limu mu buli ggombolola eritalina.

Era nga kuno yasuubizzaa okussaako eddwaliro lyayo mu buli ggombolola wamu n’ettendekero ly’ebyemikono mu buli Konsityuwensi ebigiremye okutuukiriza.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko kano akakulira omubaka w’e Obongi , Hassan Kaps Fungaroo akabadde kalondoola ebisuubizo gavumenti by’ezze ekola.

Lipooti eri palamenti egamba nti mu 2011 gavumenti yasuubizza okuzimba essomero lya siniya limu mu buli ggombolola litalina nga kuno egenda kugattako n’eddwaliro eriri ku ddaala lya ‘Health Centre 111’ kyokka byonna biremye okutuukirizibwa ng’amaggombolola mangi tegabirina.

Okuzimba essomero lya siniya kuwementa 2,026,547,917/- ng’ate eddwaliro litwala 1,858,409,308/-. Disitulikiti ezimu nga Buliisa ne Rukiga teziriimu ttendekero lya byamikono na limu,

Mu ngeri y’emu obutale bw’e Iganga Main Market, Idudi ne  Busesa bwe yasuubizza okukola tebukolangako era kino ekisuubizo palamenti egamba nti kyamenyebwa.

Ababaka era baagambye nti gavumenti yasuubizza okukuza ebisaawe by’ennyonyi okuli eky’e Soroti ne Arua bitandike okuggwaako ennyonyi eziva ebweru kyokka kino tekituukirizibwanga.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza