TOP

Anyiize n’ayiira bba olweje

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2019

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’ayiira bba olweje. Bino byabadde Nansana Nsumbi zooni, Shamim Nakafu bwe yatabuse ne bba Badru Mawejje makanika wa genereeta e Bukoto.

Funa 703x422

Nakafu, ku ddyo ye Mawejje ng’alaga ebisago.

Mawejje yategeezezza nti ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro ng’akomyewo awaka Nakafu yamusabye essimu ye ne ppini n’agaana okubimuwa kwe kuwamba essimu n’agikweka.

Mawejje agamba nti essimu yabaddeko ssente z’okusasulira amabaati kitaawe ge yamuwola nga ne Nakafu akimanyiiko.

Agamba nti bwe yamunenyezzaako olw’okugaanira essimu ye n’akwata sseppiki y’amazzi agookya n’agamuyiira mu mugongo.

Aba famire ya Mawejje baggudde ku Nakafu omusango ku fayiro SD:04/02/05/2019 ku poliisi y’e Gganda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi