TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi angobaganya mu nju gye neezimbira

Omukazi angobaganya mu nju gye neezimbira

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2019

NZE Moses Musungu, 45 ndi mutuuze w’e Mutungo mu munisipaali y’e Nakawa. Nawasa mukyala wange nga tukyali bavubuka bato era tweyagala okukamala kuba twali tumaliridde n’okubeera ffembi okutuusa okufa.

Will 703x422

Ebiseera bye nafuniramu mukyala wange ono, nali nkolera mu kibuga Mbale. Wadde nnali muto, nafuba okukola nsobole okufuna kye ndeka ku mmeeza.

Mu kwagalana kuno twafuniramu abaana basatu era bwetutyo ne tukola famire yaffe ennungi ate eyeeyagaza.

Nga wayise ebbanga, mukyala wange yatandika mpola okukyuka mu mpisa nga buli lwe nkomawo awaka annyombesa kyokka nga nali ndeekawo buli kyetaagisa awaka.

Twayomba okumala emyezi egiwera naye mu kiro kimu twafuna obutakkaanya era yakeera kugenda ku poliisi n’andoopa nga bwe mukubye era nalagira abaserikale bansibe. Bano okunkwata bansanga ku mulimu ne bantwala.

Bakozi bannange be baategeeza mukama wange ne muganda wange era ne bajja ku poliisi ne banzigyayo.

Mukazi wange yakakasa Mukama wange nti ndi musajja mubbi era bw’anaansigaza ku mulimu kkampuni ye ntuuse okugisuula.

Ono naye yangoba kw’olwo. Mu biseera ebyo kkampuni yali yampa ennyumba era waayitawo ennaku ntono ne baginzigyako, nalina okuyiiya okudda mu bupangisa.

Twasengukira mu kibuga Kampala ne ntadika obwabbulooka nga bwe ngezaako okufuna ku ssente nsobole okuyimirizawo famire yange naye era mu biseera ebyo mukyala wange yali tansuza bulungi.

Nasobola okufuna ssente ne nzimba akayumba kange tuwone obupangisa nga ndowooza nti mukyala wange anaasanyuka naye ne bwe twayingira mu maka gaffe amapya yasigala akyanvuma n’okunswaza mu maaso g’abaana baffe.

Kati angoba mu nnyumba gye nazimba, agamba nti muviire ηηende mu kyalo sikyalina makulu eri famire naye saagala kusuulawo baana bange kubanga mbaagala okukamala. Simanyi kyakukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...