TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukuumi w’omubaka Nantume akubye omuntu essasi erimusse

Omukuumi w’omubaka Nantume akubye omuntu essasi erimusse

By Henry Nsubuga

Added 27th May 2019

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto ategeezezza nti omugenzi ye Sadiq Kizito omutuuze ku mwalo gw’e Kiziba sso ng’ate omuserikale eyamusse ye Martin Beema. Ekikangabwa kino kyaguddewo ku Ssande ku makya.

Mknded1 703x422

Nantume ng’ayogera mu bamu ku bantu b’e Buvuma mu kwebuuza ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Entiisa egudde mu bantu ku kizinga ky’e Kiziba mu ggombolola y’e Bugaya mu disitulikiti y’e Buvuma omukuumi w’omubaka wa palamenti omukyala akiikirira ebizinga, Jennifer Nantume Egunyu bw’akubye omuntu essasi erimuttiddewo.

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto ategeezezza nti omugenzi ye Sadiq Kizito omutuuze ku mwalo gw’e Kiziba sso ng’ate omuserikale eyamusse ye Martin Beema. Ekikangabwa kino kyaguddewo ku Ssande ku makya.

Butoto yagambye nti Nantume ng’ali mu lyato n’abantu be okuli n’omukuumi baatuuse ku mwalo gw’e Kiziba ku ssaawa nga 5:00 ez’oku makya abantu ne bagaana eryato lye okugoba nga bawakanya eky’okuba nga yabadde amaze ebbanga ddene nga tegenda gye bali.

Oluvannyuma lw’okugoba, Butoto yagambye nti bano baatandise okuggya ebintu bye baabadde bagenda okukozesa mu lyato okuli n’emizindaalo wakati mu bantu okwegugunga.

“Mu kiseera kino, owapoliisi yaggyeyo pisito n’asooka okukuba essasi mu bbanga okwagala okugumbulula abantu ne bagenda mu maaso n’okwagala okumukungaanirako awo we yakubidde Kizito essasi mu kamwa eryamuttiddewo,” Butoto bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti olw’okwagala okwetaasa ku bantu, Nantume n’abantu be baalinnye eryato lyabwe ne badduka nga n’okutuusa olwaleero tebannabawuliza.

Yategeezezza nti omukuumi ono waakukwatibwa avunaanibwe ogw’okutta omuntu ng’okunoonyereza kuwedde.

Butoto yagambye nti olw’embeera y’ebizinga, omulambo omusawo yagukeberedde mu kifo kyennyini we bamuttidde n’emala n’egukwasa ab’enganda b’omugenzi abaagututte okuguziika ku kyalo Mpanga mu disitulikiti y’e Namayingo.

Yagambye nti Nantume yatuuka mu bizinga by’e Buvuma ku Lwomukaaga okulambula abantu kyokka ng’ekizibu kino kyaguddewo ku Ssande.

Bernard Kasimire owa BMU ku mwalo gw’e Mubaale eyabaddewo ng’obuzibu buno bugwawo yagambye nti omuserikale ono yabadde tali mu yunifoomu ng’era teri yabadde amanyi nti oba musirikale nga baamulabye kuggyayo mmundu na kukuba ssasi eryamaze ne litta munnaabwe.

Kasimire yagambye nti omusirikale bwe yamaze okutta omuntu n’agenda mu lyato n’afuna emmundu ennene eya A47 n’anona omubaka ne beemulula ne bagenda.

Yategeezezza nti abantu Nantume baamuvunaana okuwagira ekiteeso eky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti nga n’okubeebuuzaako tabeebuuzizzaako.

Kaweefube wa Bukedde okwogerako ne Nantume ku Ssande ne ku Mmande ku makya yagudde butaka olw’okumukubira ku ssimu ye ey’omu ngalo nga tagikwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...