TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rwanda bagiddiza omulambo gwa munnansi waayo eyakubiddwa amasasi

Rwanda bagiddiza omulambo gwa munnansi waayo eyakubiddwa amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th May 2019

UGANDA ekwasizza Rwanda omulambo gwa munnansi waayo (ow’e Rwanda) eyattiddwa abajaasi ba Rwasnda ku ttaka lya Uganda ku Lwokutaano.

D7klzjqwsaaf47768512 703x422

UGANDA ekwasizza Rwanda omulambo gwa munnansi  wayo (ow’e Rwanda) eyattiddwa ku ttaka lya Uganda ku Lwokutaano.

Peter Nyengye yattiddwa amagye ga Rwanda agaamulumbe ku ttaka lya Uganda mu katawuni k’e Hamisavu mu ggombolola y’e Kamwezi mu disitulikiti y’e Rukiga nga gamulumirizza okuba nga yabadde yeenyigira mu kukusa ebyamaguzi.

Omugenzi yattiddwa ne Munnayuganda  Alex Nyesiga agambibwa nti yabadde agezaako okumutawulula ku magye.

Uganda yawandiikidde Rwanda nga yeemulugunya ku kikolwa kino kyokka ne Rwanda ne yeegaana nti omusuubuzi teyattiddwa ku ttaka lya Uganda yafiiridde waabwe Rwanda.

Omukolo gw’okuwaayo omulambo gwabaddeko bambasada  b’amawanga g’ebweru ababeera mu Uganda munaana.

Omukolo gwabaddewo ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo era omulambo gwakwasiddwa meeya w’e Nyagatare mu Rwanda, David Mushabe Claudian.

Kigambibwa nti  Nyengye  yabadde avuga pikpiki eriko ebyamaguzi ng’agezaako okuyingira ne yekanga amagye g’ewabwe n’akomawo mu Uganda.

Wabula nti gaamugoberedde ku ttaka lya Uganda kwe yabadde ali ne gamukuba amasasi agaamutiddewo ne Munnayuganda eyabadde agezaako okuyingira mu nsonga naye teyalutonze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...

Youcandresslikethisandstilllookcorporatenewwebuse 220x290

Engoye z'oyambala ku woofiisi ng'osobola...

Engeri gy'oyambala Hijaabu n'onyuma ku woofiisi ate n'osobola okusaala