TOP

Roy Mubiru eyawangudde emiddaali gya zzaabu asiimiddwa

By Martin Ndijjo

Added 28th May 2019

Cameroon Gitawo ateekateeka mukolo kujaguza n'okusiima Roy Mubiru eyawangudde zzaabu mu World cup w’obuzito

Mubirugitawo 703x422

Gitawo (ku kkono) ne Mubiru ku ddyo n'emiddaali gye

NGA akyajaganya olw’emiddaali  gya zzaabu gye yawangudde, Roy Mubiru essanyu limweyongedde maneja we Cameroon Gitawo bwamwegasseko mu Amerika mu nteekateeka ezigenda mu maaso okumusiima mu butongole olw’obuwanguzi bwe yatuuseko n’okuwanika  bbendera ya Uganda

Omugagga Gitawo maneja wa Mubiru e South Africa era omu ku bamuteekamu ssente  ali New york gye yagenze okusisinkana Mubiru era agamba ng’ogyeko okukulisayo omuzannyi we mu mpaka za ‘world cup’ w’obuzito, bali mu nteekateeka za kukola mukolo Bannayuganda abali mu Amerika kwe bagenda okukung’aanira okusiima Mubiru olw’obuwanguzi n’ebirungi byakoledde ensi ye Uganda era abakunze bonna okubaayo.

 ubiru wakati ne itawo ku kkono nga bogera ne bannamawulire Mubiru (wakati) ne Gitawo ku kkono nga bogera ne bannamawulire

Empaka Mubiru nnantameggwa  muzannyo gw’okusitula obuzito (Powerlifting and Cross fit) ze yawangudde zabadde mu kibuga Lutsk mu Ukraine.

Emiddaala gye yawangudde okuli ogw’omuzannyi asinze okwolesa ekitone n’eyasinze mu buzito bwa kiro 125 era gino agigasse ku middaali emirala gyazze awangula mu mpaka ezenjawulo

Mubiru akwatiridde bbendera ya Uganda mu muzannyo guno mu nsi yonna asabye abantu nga bwe bamuwagidde n’amaanyi ng’avuganya mu mpaka zino bongere okumuwagira asobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa n’enteekateeka ze ez’okusitula ebitone by’abavubuka n’abaana abato mu muzannyo guno.

Gyebuvuddeko Mubiru yatandikawo empaka za RM Powerlifting and Crossfit Championship ezibaawo buli mwaka mu Uganda okutumbula ebitone ebito n’okwagazisa abantu omuzannyo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze