TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bafunye kompyuta ezinaabayambako mu kusoma kwabwe.

Bafunye kompyuta ezinaabayambako mu kusoma kwabwe.

By Olive Lwanga

Added 28th May 2019

Abasawo abasoma kkoosi ya palliative care baweereddwa kompyuta ne projector ebinaabayamabako mu kusoma kwabwe.

ABAYIZI abakola essomo lya ‘Palliative Care’ bakubiziddwa okwongera amaanyi mu misomo gyabwe kino kisobozese abalwadde bonna abeetaaga obujjanjabi bw’okubudaabuda okubufuna obulungi ate nga babufunye ku bakugu abaabisoma.

Rose Kiwanuka akulira ekitongole kya Palliative Care Association Uganda agamba nti, baakwatagana ne Mulago School Of Nursing okulaba nga batandika okusomesa abasawo  okuva mu malwaliro ga Gavumenti kkoosi ya Palliative Care. Era kati bali abayizi 15 nga bebaasooka nabo era nga basomera Mulago.

“Kino twakikola okusobola okwongera ku muwendo gw’abasawo abajjanjaba mu njijanjaba ey’okubudaabuda eya ‘palliative care’. Mu kaweefube ono tusazeewo okugulira abayizi bano ebintu ebinaabayambako mu kusoma kwabwe omuli laptop ne ‘projector’. Buli muyizi yakwasiddwa laptop ye basobola okwanguyirwa mu misomo gyabwe.” Kiwanuka bwe yagambye.

Ekitongole kya Palliative Care kinoonya fiizi okuweerera abasawo bano n’ekigendererwa ky’okulaba ng’abalwadde bonna abetaaga obujjanjabi buno babufuna naddala abalina obulwadde nga kkookolo, akafuba, siriimu, endwadde z’omutima, ensigo, n’endala ez’olukonvuba. Minisitule y’ebyobulamu nayo yakikkiriza era n’ekakasa enteekateeka y’ebyensoma mu kkoosi eno nga bwe yakubibwa ey’okusomesa abasawo bano.  

Ate akola nga amyuka akulira Mulago School of Nursing, Jonathan Mugisha Kamanda yeebaziza aba Palliative Care okuwa abayizi ebikozesebwa kubanga bigenda kubayamba mu kusoma kwabwe kwe balimu kibayambe okumalayo amangu bye basoma kuba buli omu aweereddwa laptop.

Bino byabadde Mulago ku Lwokutaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...