TOP

Bukedde Tv ereese empaka z’ebitone.

By Martin Ndijjo

Added 28th May 2019

Bukedde Tv ekuleetedde empaka z’okwolesa ebitone owangule ssente.

Kito 703x422

okuva ku kkono; Chiko

MU kaweefube w’okuyamba okutumbula ebitone n’okuddiza ku balabi baayo, Bukedde TV1 ereese empaka ezituumiddwa ‘Yolesa ekitone’ ezigendereddwamu okuwa Bannayuganda okwolesa ebitone ebyenjawulo bye balina ate bawangule ne ssente.

Ng’ayanjula enteekateeka eno mu lukung’aana lwa lwa bannamawulire olwatudde eggulo ku Hotel Africa, Moses Kasasa avunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo za Bukedde TV1 yategeezezza nti kino ekikoleddwa kigenda okuyamba Bannayuganda okufuna omukisa okulaga ebitone bye balina n’okubikulaakulanya .

“Buli muntu omukulu n’omuto akkirizibwa okuvuganya mu mpaka zino ate okuzeetabamu kikumala okufuuka omuwanguzi ne bw’oba tofunye ssente era nkubiriza Bannayuganda abalina buli kika ky’ebitone okuzijjumbira ate beekuumire ku Bukedde TV okulaba ebinaaba bikwatiddwa nga biragibwa. 

 ower an nga asitudde asembe owa ukedde Power Man nga asitudde Masembe owa Bukedde

Tugenda kutalaaga eggwanga nga tutandikira, Jinja nga June 8, 2019, Masaka – June 15, 2019, Gulu- June 22,2019 ne Kampala June 29-30, 2019.”

Omuwanguzi waakufuna obukadde 10. Kenneth Oduka avunaanyizibwa ku kutumbula Bukedde TV yategeezezza nti empaka zino ziwagiddwa aba Harris International abakukolera eky’okunywa kya Funtime so nga aba Kunta Production be bajja okukwata ebinaafulumizibwa. Nga banoonya abalina ebitone, abantu bataano be bagenda okusunsulwamu okuva e Jinja, Masaka ne Gulu ate mu Kampala abantu 15.

 omuwala eyeeyita frican ift nga yeewese omubiri omuwala eyeeyita African Gift nga yeewese omubiri.

Bano oluvannyuma baakuvuganya balondeko abasatu abanaaba basinze nga ku bano omuwanguzi waakufuna obukadde 10, owookubiri obukadde 4 ate owookusatu akakadde kamu.

ABASAZI B’EMPAKA BAKUNZE ABANTU OKUJJUMBIRA EMPAKA

Mu mbeera ey’okulaba nti empaka zino zitambulira ddala bulungi. Balonze munnakatemba Alex Mukulu ne Iryn Namubiru okubeera abamu ku basazi b’empaka zino ate bakazannyirizi Madrat ne Chiko be bagenda okubeera abanjuzi b’empaka zino.

abobugologosi nabbo babaddeyoab'obugologosi nabbo babaddeyo

Ng’ayogera ku mpaka zino, Namubiru yasoose kusiima Bukedde TV okuvaayo n’enteekateeka eno era yakubirizza abantu abalina ebitone okukozesa omukisa guno okubiraga kubanga Bukedde erabibwa ensi yonna.

Madrat ne Chiko baategezezza nti omuntu anaalabikira kuBukedde ng’ayolesa ekitone alina emikisa mungi okufuna abamuteekamu ssente. Bino bijja kulagibwa ku Bukedde TV 1 buli lunaku okuva ku ssaawa 12.45 akawungeezi okutuuka ku 1.00 ate ku Ssande okuva ku ssaawa 2.00 ez’ekiro okutuuka ku 3.00.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...