TOP

Polof. Nsibambi alaamidde muwala okumusikira

By Dickson Kulumba

Added 30th May 2019

POLOF. Apolo Robin Nsibambi alese alaamidde muwala we okumusikira, ekintu ne muganda we Polof. Pilkington Ssengendo kye yakola.

Sika 703x422

Abamu ku baana ba Polof. Nsibambi okugenda okuva anaamusikira.

POLOF. Apolo Robin Nsibambi alese alaamidde muwala we okumusikira, ekintu ne muganda we Polof. Pilkington Ssengendo kye yakola.

Nsibambi yasinziira mu Lutikko e Namirembe nga October 6, 2015 mu kusabira mukulu we n’ategeeza nti, bw’afanga bamusikizanga muwala we.

Polof. Ssengendo yali musiizi wa bifaananyi omwatiikirivu era eyakulirako ebbanguliro ly’ebifaananyi ku yunivasite e Makerere. Yalaamira muwala we okumusikira era bwe kyakolebwa.

“Bwe nfanga nange muwala wange y’alina okunsikira era mwenna nsuubira mutegedde ekiraamo kyange”, Nsibambi bwe yagamba.

Nsibambi alese abaana bana nga bonna baabuwala, era abamuli ku lusegere bagamba abadde agamba nti, kino takirinaako buzibu.

Omugenzi abadde mwagazi wa famire ye era ng’obulamu bwe tateng'ana na mukyala we era ng’awuliziganya n’abaana be kumpi buli lunaku n’abali mu mawanga ageebweru.

Yasooka kuwasa Dr. Rhodah Nsibambi ne bazaala abaana bana okuli; Rhodah Kasujja eyafumbirwa Matthew Kasujja, Lydia Mulondo eyafumbirwa Godfrey Mulondo, Eseza Ssali eyafumbirwa John Ssali ne Juliet Kasujja eyafumbirwa James Kasujja nga babeera Luzira.

Matthew Kasujja ye yasooka okuwasa Rhodah, oluvannyuma ne muto we James Kasujja n’aganza Juliet era ne bakola obufumbo.

Owooluganda lwa Nsibambi ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti, omugenzi alina abaana bana ab’omu ntumbwe kyokka mu nteekateeka z’okuziika boogera abaana bataano nga bagasseeko ne Violet Kisaakye eyajja ne nnyina ng’ono abadde abeera ne bazadde be e Bulange.

“Kitaffe yatugamba obutaboola Kisaakye kuba wadde nga yajja ne maama, naye muwala we ddala” owooluganda bwe yagambye.

Abaana ababiri okuli; Rhodah Kasujja ne Eseza Ssali babeera Canada ate Lydia Mulondo abeera Ntebe ne Juliet Kasujja ow’e Luzira.

Mu 2001, Rhoda Nsibambi yava mu bulamu bw’ensi ku myaka 62 oluvannyuma lw’okukubwa puleesa n’afiira mu ddwaaliro e Mengo.

Abamanyi Nsibambi bagamba nti, yakosebwa nnyo kuba yalina omukwano ogutagambika ne Rhodah.

Buli kawungeezi abafumbo bano baakubanga ennanga nga bali bonna awaka nga bwe bakoloobezaako n’ennyimba z’eddiini. Famire baali baagizimbira ku musingi gw’eddiini era ng’awaka tewaggwa kusaba.

Kino baakikulizaamu n’abaana baabwe. Mu March wa 2003 Nsibambi yaddamu n’awasa Esther amukuumye okutuusa okufa naye nga tebalina mwana.

Okuddamu okuwasa yasooka kwebuuza ku baana be n’abakulu mu Kkanisa ya Uganda abaamusemba addemu awase.

Nsibambi abadde alina omukwano ne Esther era nga mu kkanisa n’emikolo batambula babiri.

Ekiseera ekisembyeyo Esther abadde amukwatirirako ku mukono nga batambula.

Ku lunaku olwasembyeyo ku Lwokubiri, Esther yakedde kufumbira bba ekyenkya era n’alya bulungi n’ekyemisana.

Kyokka zaabadde ziwera essaawa 10:00 embeera n’etandika okwonooneka okutuusa bwe yavudde mu bulamu bw’ensi nga bateekateeka okumutwala mu ddwaaliro e Mengo. Mu bulamu teyazaala ku mwana mulenzi.

Kyokka kino kikontana n’obuwangwa obutakkiriza mwana muwala kusikira musajja.

Abeera alina okufuna omwana wa mugandawe oba muganda we n’amusikira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup