TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni agenda kuwa Abasiraamu ez’okuzimba ekijjukizo e Namugongo

Museveni agenda kuwa Abasiraamu ez’okuzimba ekijjukizo e Namugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2019

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asuubizza okuwa Abasiraamu ssente basobole okukulaakulanya ekifo kyabwe e Namugongo we battira Abasiraamu abajulizi nakyo kituukane n’omutindo.

Genda 703x422

Pulezidenti Museveni (mu ssaati enjeru) n’abamu ku Basheikh abaasiibuluddwa.

Yabadde ayanukula Mufti Sheikh Shabban Mubajje eyamusabye ayambe Abasiraamu nga bwe yasuubiza okuliyirira abantu abeesenza ku ttaka ewali ekijjukizo ky’Abajulizi Abasiraamu e Namugongo.

Museveni yagambye nti agenda kulagira abakozi mu ofi isi ye bakole ku nsonga eno n’agamba nti kyandibadde kyakolebwako dda naye Abasiraamu tebaasooka kubiteekamu bbugumu ng’Abakristu.

Museveni yabadde ayogera eri abakulembeze b’Abasiraamu n’abagenyi abaayitiddwa ku kijjulo kya Futaali mu makaage e Ntebe.

Ekijjulo kyetabiddwaako Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, omumyuka asooka owa Katikkiro Hajji Ali Kivejinja, omumyuka wa ssentebe wa NRM Alhaj Moses Kigongo, akulira eddiini y’Abasodokisi mu Uganda, Yona Lwanga, ababaka b’amawanga, ababaka ba Palamenti n’abasuubuzi okwabdde Sofi a Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina.

Maama Fiina eyabadde ne muwala we Fiina yagambye nti bulijjo abadde ayitibwa okwetaba mu kusiibulukuka mu maka ga Pulezidenti nga takwetabako naye ku luno baamukubidde nti alina okubeerawo.

Yagambye nti engeri gy’ateekateeka okugenda e Mecca yabadde tasobola kusubwa mukisa guno.

Mufti Mubajje yasabye gavumenti eteekewo enkola y’okugula ebirime ebitereke mu masitoowa eddemu okubiguza abantu nga ebbeeyi erinnye.

Museveni yagambye nti yatandise okutambula mu byalo ng’abuulira abantu enjiri y’okukola kyokka n’agamba nti mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu gwe yatandiseewo, tayagala kuddamu kusanga abalera engalo n’okutunuulira abalala nga bakola kye yagambye nti kivaako obwavu okweyongera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup