TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Busoga bayomba lwa gav't butabazimbira butale bwe yabasuubizza

Ab'e Busoga bayomba lwa gav't butabazimbira butale bwe yabasuubizza

By Muwanga Kakooza

Added 30th May 2019

SIPIIKA Rebecca Kadaga akunze Abasoga ababeera mu Amerika okuleeta ssente eka bayambe mu kulakulanya ekitundu kyabwe (Busoga) naddala nga bayita mu kutumbuyla eby’obulambuzi.

Speakerrebeccakadagaaddressingthemedia 703x422

Sipiika Rebecca Kadaga

SIPIIKA Rebecca Kadaga akunze Abasoga ababeera mu Amerika okuleeta ssente eka bayambe mu kulakulanya ekitundu kyabwe (Busoga) naddala nga bayita mu kutumbuyla eby’obulambuzi.

Mu ngeri y’emu Kadaga agambye nti palamenti yayisizza  ensimbi ezisoba mu buwumbi musanvu n’ekitundu ez’okuyamba Busoga okwekulakulanya eve mu bwavu.Zino ensimbi ziri mu pulogulaamu ey’enjawulo ey’okuyamba okukyusa ebyenfuna bya Busoga.

Bino byabadde mu bubaka bwa sipikka Rebecca Kadaga obwamusomeddwa omubaka w’esaza ly’e Busiki PAUL Akamba mu lukung’ana lw’Abasoga ababeera mu America olwa ‘’Busoga Twegaite’’ olwabumbujjidde mu kibuga New Jersey ekya Amerika.

Kadaga ng’ayita mu bubaka bwe yawerezza abeetabye mu lukung’ana yabakunze okuleeta ssente okulakulanya eby’obulambuzi e Busoga. E Busoga waliyo ebifo bingi ebisobola okulakulanyizibwa  ne bisitula ebyenfuna by’ekitundu.

 Ekimu ku bitundu bifo bino kuliko awatirwa omulabirizi Omuzungu Hannington ekisangibwa e Kyando mu disitulikiti y’e Mayuge . Buli mwaka abalamazi bagenda mu kifo kino okulaba awatirwa omulabirizi Omuzungu ono agambibwa nti yattibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga bwe yali ajja e Buganda okuleeta eddiini.Waliwo n’abaagala afuulibwe omujjulizi.

Yagambye nti ebiyiriro by’e Itanda n’olusozi lw’e Kagulu nabyo bisobola okuyamba okutumbula ebyobulambuzi.

Omubaka w’e Bugabula South Henry Maurice Kibalya yategeezezza nti pulogulaamu y’okuyamba Busoga okwekulakulanya efananana n’ezassibwawo okuyamba ebitundu ebirala nga NUSAF eyayamba ab’omu bukiikakkono bwa Uganda n’eya Karamoja Development Programme eyamba ab’e Karamoja .

            Olukung’ana lwa ‘Twegaite’ lwatandikibwawo e New Jersey mu Amerika mu 1998 era lutuula omulundi gumu buli myaka ebiri  nga lukung’anya Abasoga ababeera mu Amerika ne mikwano gyabwe.

Olukung’ana luyamba luyambye okussaawo ensimbi ez’abakazi ez’okwewola mu saza ly’e KAGOMA ne luyamba n’okutandikawo emisinde gya ‘source of the Nile. Era luyamba mu kuddaabiriza  eddwaliro ly’e Jinja n’okuwayo emmottoka y’okuleeta abalwadde okuva mu bitundu bya Busoga ebitali bimu okubaleeta mu ddwaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...