TOP

Mesach Semakula abakoowodde ku Africana

By Martin Ndijjo

Added 30th May 2019

Ng'ebula ennaku mbale okutuuka ku kivvulu kye, Mesach Semakula agamba abalinze ku Africana abakube omuziki

Misa 703x422

Okuva ku kkono; Sophie Gombya

Mesach Semakula akoowodde abantu okweyiwa mu konsati ye etuumiddwa ‘Bwagamba Experience My Journey Episode 2’ egenda okubeerawo nga June 14 ku Hotel Africana.

Mu lukung’aana lwa bannamawulire lwatuuzizza leero ku ku Africana, Semakula agembye takyali mu ttuluba ly’abayimbi abategeka ekivvulu okutongoza oluyimba, akola ekivvulu kujaguza n’okusanyukira awamu n’abawagizi be kubanga enyimba ze empya n’ekadde zonna zibannyumira.

Ono era akakasizza nga Ssabasajja bwe yasiimye okujja okubawo ku kivvulu kye kino nakowoola abantu okujja mu bungi okubugiriza Omutanda.

Semakula abadde ne Dr. Hilderman, Maureen Nantume,  Carol Nantongo wamu ne Sophie Gombya agasseeko nti “Mbalinze mbakube omuziki, luyimba ku luyimba okutandikira ku nkadde okutuuka we tuli kati.”

Konsati eno etegekeddwa aba KT Events newagirwa Vision Group efulumya Bukedde, Semakula agamba agikoze okusanyukirako awamu n’abawagizi be abamubeereddewo n’okumuwagira ebbanga lino lyonna, abakube emiziki n’okubamalako situleesi era okuyingira 100,000/-, 200,000/- ne 2,000,000/- emmeeza.

Ye Dorah Namaala ku lwa Bukedde Tv ategezezza  nga bwe bagenda okuwa abantu omukisa okugenda mu kivvulu kino nga bayita mu kuwangula tikiti gwe ayagala wekuumire ku mikutu gya Bukedde egyenjawulo ne pulogulaamu za Bukedde Tv ez’amasanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...