TOP

Nsibambi alaze ebisoomoozezza Buganda ne Gavt.

By Kizito Musoke

Added 31st May 2019

EMYAKA 12 Polof. Apolo Robin Nsibambi gye yamala ku bwakatikkiro bwa Uganda yasanga okusoomoozebwa kwa mirundi munaana nga kuva ku nsonga za Buganda. Mu kitabo kye yawandiika n’akituuma ‘National Integration,’ Nsibambi agamba nti waliwo embeera gye yatuukamu ng’Omuganda ate Katikkiro w’eggwanga ng’Obwakabaka bukuubagana ne Gavumenti ya wakati era ne yeesanga ng’ali mu kusoomoozebwa.

Apollo3703422 703x422

Polof. Apolo Nsibambi kati omugenzi

1 ENFUGA YA REGIONAL TIER

Gavumenti ya wakati yateesa okuteekawo Gavumenti z’ebitundu mu bitundu by’eggwanga byonna, kyokka obuzibu kiba tekinnaba kwanjulwa ne wabeerawo abaasomola ebyalimu ne bifulumira mu mawulire.

Hajji Hussein Kyanjo ne Betty Nambooze baakuma mu bantu omuliro nga babakunga okujeemera enfuga eyali ereetebwa naddala eky’okukuba akalulu ka Katikkiro wa Uganda.

Embeera yali ya bunkenke ekyaleetera Kabaka okutegeeza nga February 14, 2004 nti Obwakabaka obwali buddiziddwaawo buli mu bigambo, nga tewali kinene kye buyinza kuyamba bantu.

Wadde nga Pulezidenti yalaga nti yali mwetegefu okusisinkana Kabaka boogere ku nsonga eno, kyokka eyali Katikkiro wa Buganda, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere yasajjula embeera bwe yategeeza Obuganda ebikujjuko by’okujjukira amatikkira ga Kabaka ebyali bigenda okubeera e Bugerere byali bisaziddwaamu kuba embeera yali yaakukungubaga.

Gavumenti bwe yalaba ng’embeera esajjuka yasalawo okuttukiza enteeseganya za Federo era Museveni n’alonda Amama Mbabazi okukuliramu enteeseganya ku lwa Gavumenti.

Pulezidenti yaleeta ekirowoozo eky’okuteekawo enkiiko ebbiri e Mmengo okuli olw’Abataka n’olwa bannabyabufuzi. Kino Mmengo yakiwakanya nga bagamba nti lulina kubeera lumu. Abakulembeze b’enzikiriza okwali; Kalidinaali Emmanuel Wamala, Sheikh Rajab Kakooza ne Ssaabalabirizi Nkoyooyo baawagira Mmengo olwo ne gujabagira.

Gye byaggweera nga Mmengo egobye enfuga ya Regional Tier, wadde nga ku lulwe alaba nga yafiirwa nnyo okufuna obuyinza kwe yali ey’okuzimbira.

2 OKUKYUSAA ETTEEKA LY’ETTAKA

Gavumenti yayagala okuleeta ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka erya The Land (amendment) Act 2010 okusobola okulwanyisa okusengula abasenze okwali kuyitiridde.

Tewali musenze yali ajja kuddamu kusengulwa okuggyako ng’ekiragiro kiyisiddwa Kkooti Enkulu. Kyali kigenda kwetaagisa Gavumenti okutondawo ensawo egenda okuyamba abeebibanja okwegula.

Mmengo kino yakiwakanya nnyo ne batuuka n’okugamba nti ennongoosereza zaali zireeteddwa kubbirako ttaka lya Buganda.

Buganda yagaanira ddala ennongoosereza zonna era n’eteekawo akakiiko akakulirwa Betty Nambooze katalaage ebitundu bya Buganda nga basomesa abantu.

Eyali Ssaabawolereza wa Buganda, Apollo Makubuya yabaga ekiwandiiko omwali ensonga kkumi ng’awakanya ebbago ly’etteeka. Gavumenti mu kwetaasa nayo yalagira omumyuka wa Ssaabawolereza Fred Ruhindi okwanukula Makubuya mu bwangu.

3 EBBALUWA YA KABAKA ERAGA OBUNYIIVU GYE YAWEEREZA PULEZIDENTI

Nga December 27, 2007, eyali akola nga Katikkiro wa Buganda Emmanuel Ssendaula yawandiikira Pulezidenti ebbaluwa ku lwa Kabaka.

Ebbaluwa yategeeza Pulezidenti ng’Obuganda bwe butali bumativu n’olulimi olwali lukozesebwa abakungu ba Gavumenti nga boogera ku Mmengo.

Eky’okulumiriza Kabaka nga bwe yali yeenyigidde mu byobufuzi ebyawula olw’okuwakanya etteeka ly’ettaka kyalagibwa nti baali bamulanga bwereere kuba Obwabakaba buzimbirwa ku ttaka era kye kimuyisa Ssaabataka.

Etteeka Mmengo yalaga nti lyali ligendereddwaamu okuggyawo ettaka lya mayiro n’okwongera okusengula abantu era bangi baali baakufuuka mmomboze mu nsi yaabwe.

Buli Muganda yenna eyali alaga nti awagira etteeka baakimuteekako nti yali alidde mu Buganda olukwe.

4 PULEZIDENTI AYANUKULA KABAKA

Pulezidenti bwe yali asisinkanye olukiiko lw’akabondo ka babaka abava mu Buganda nga September 10, 2009 mu maka ag’Obwapulezidenti e Ntebe, yategeeza nti Kabaka okuvaayo n’awakanya etteeka ly’ettaka mu lujjudde yali amenye Konsitityusoni.

Yategeeza nti Kabaka yali agaanye okumusisinkana wadde okukwata amasimu g’amukubira.

Yalumiriza ne leediyo ya CBS nga bwe yali etandise okwawula mu bantu ng’eriko beerumiriza okubeera abennyindo empaanvu. Yawera nti Gavumenti ensonga eno yali tegenda kugikwata mu ngeri yaakusaaga.

5 OKUSIBA BAMINISITA BA KABAKA

Nga July 18, 2008, poliisi yakwata baminisita ba Kabaka okwali; Charles Peter Mayiga ne Medard Lubega Sseggona n’omukungu Betty Nambooze.

Eyali omubaka wa Butambala, Hajji Ibrahim Lubega Kaddunabbi yakunga ababaka ne babaga ekiwandiiko ekyasaba Palamenti n’etuula mu ngeri eyenjawulo okuteesa ku nsonga eno.

Kyokka ekyamumalako enviiri kwe kubuuza eyali omuwaabi wa Gavumenti, Richard Buteera n’amugamba nti abakwate baali bagenda kuggulwako omusango gwa ‘sedition’ ogw’okwogera ebigambo ebisobola okutabangula embeera. Kyokka Kkooti omusango yagugoba nti tegukyaliyo mu mateeka.

6 ETTEEKA LY’OKULABIRIRA ABAFUZI B’ENSIKIRANO

Ekiteeso ky’okulabirira abafuzi be nsikirano nga babasaasaanyizaako obukadde 600 okwali obukadde obutaano buli mwezi, okuweerera abaana baabwe basatu, eby’okwerinda byabwe n’okulabirira embiri kyayogeza abantu ebikankana.

Abataka abamu nga Gideon Kisitu owe Bulemeezi yatuuka n’okugamba nti Obote yakozesa mmundu okuggyawo Obwakabaka ne Gavumenti esazeewo kweyambisa kakodyo kalala.

Wadde ng’etteeka lyamala ne liyita, kyokka abaaliwagira baavumirirwa nnyo era Kabaka yagaanira ddala okufuna obukadde obutaano ne gye buli eno.

7 GAVUMENTI LWE YAGAANA KABAKA OKUGENDA E NAKASONGOLA

Nga October 6, 2008 Gavumenti yategeeza nga bwe yali egaanye Kabaka okugenda e Nakasongola ku mukolo gwa Bulungibwansi ng’egamba nti embeera y’ebyokwerinda yali tesobozesa mikolo kubeerawo.

Waayita mbale Mmengo n’erangirira nga Kabaka bwe yali agenda e Bugerere. Katikkiro J.B Walusimbi yali agenda e Bugerere okulaba entegeka ne bamugaanira ku lutindo lwa Sezibwa.

Ekyaddirira kwali kwekalakaasa mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo okwali n’okwokya poliisi ye Nateete, abantu 27 battibwa, emmotoka 21 ne zoonoonebwa. Ekyataasa embeera ye Katikkiro okulangirira nti Kabaka yali takyagenze Bugerere.

8 EKITEESO KYA BUGANDA OKWEKUTULA KU BUGANDA

Hajji Hussein Kyanjo eyali omubaka wa Makindye West yakunga Abaganda bawagire enteekateeka y’okwawula Buganda ku Uganda eyawamu.

Yali agamba nti obufumbo bwe baayingira tebulina makulu kuba baali baboolebwa mu bifo bya Gavumenti.

Wadde nga poliisi yayita Kyanjo ku kitebe kya poliisi abitebye, kyokka eyali omumyuka wa Katikkiro Yusuf Nsubuga Nsambu n’avaayo n’awagira ebigambo bya Kyanjo nga bw’agamba nti baayingira obufumbo mu mirembe, kyokka mu kiseera kino ng’okwagalana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...