TOP

Famire y’omubuulizi bagiwadde obutwa

By Ali Kizza

Added 3rd June 2019

ABAKRISTAAYO b’ekkanisa y’e Nakawuka baasiibye mu maziga, kusattira na kiyongobero.

Butwa 703x422

Omubuulizi Emmanuel Kimuli mu ddwaaliro e Mengo gy’ajjanjabirwa ne mutabani we. Omukyala n’abaana ababiri baafudde. Mu katono, Axam Muwanguzi 6, ku kitanda e Mengo. Nnyina ne baganda be babiri baafudde.

Abaakedde okusinza ku kkanisa ya St. Stephen – Nakawuka, byabaweddeko bwe baafunye amawulire nti omubuulizi waabwe yaweereddwa obutwa.

Badduse mangu okutuuka ku nnyumba baamusanze aboyaana nga tavaamu kigambo.

Okwetegereza nga mukyala we n’omwana omu bafu, omubuulizi n’abaana abalala babiri bali mu mbeera mbi. Baabaddusizza mu ddwaaliro e Mengo kyokka baba batuuka n’omwana omulala n’akutuka!

Emmanuel Kimuli (30) abadde yaakamala emyezi esatu gyokka mu Busumba bwe Jjungo mu bussaabadinkoni bw’e Ntebe mu Bulabirizi bw’e Namirembe ye yaweereddwa ebirowoozebwa okuba obutwa ne famire ye nga kiteeberezebwa nti baabibateze mu byakulya.

Mukyala wa Kimuli Joyce Kimuli wamu n’abaana baabwe babiri okuli Fahad Muwanguzi (9) ne Elijah Kinobe(1) baafiiriddewo.

Kimuli yali Musiraamu n’akyuka, amannya g’abaana buli omu n’asigaza erirye. Ennyumba kwe basula yeesudde mmita nga ssatu okuva ku kkanisa.

Poliisi olwatuuse ne yeekebejja emirambo era kwe kukwata emmere gye baasembye okulyako ne bagiteeka mu kaveera ne bagitwala wamu n’emirambo okwekebejjebwa.

Kimuli yasimattuse wamu n’omwana omu yekka Axam Muwanguzi nga bano bajjanjabibwa mu ddwaaliro e Mengo.

Kimuli eyabadde tannamanya nti abantu be okuli omukyala n’abaana babiri bafudde, twamusanze ku kitanda n’annyonnyola ebyabaddewo eggulolimu.

Yagambye: “Nava mu Bulabirizi bw’e Mukono ku kkanisa ya St Stephen ne ntwalibwa okuweereza mu St. Stephen Nakawuka era mbadde naakamalayo emyezi esatu. Eggulo (Lwamukaaga) tetwafumbye kyaggulo wabula naguzeeyo obwokulya obutonotono okwabadde capati, cipusi n’ennyama.

Nze nanywedde caayi na capati omukyala n’abaana ne balya cipusi kubanga abaana bazaagala nnyo. Bwe twamaze okulya omukyala ng’alina ekimunyoola ne nsooka musabirako. Nagenze okulaba nga n’omwana agudde eri alambadde.

Nabasabidde kubanga bulijjo waliwo ekintu ekibadde kimusimba nga bwe kituukawo nga mmusabira n’atereera. Obudde bwe bukedde ku makya hhenze okuwulira nga mpulira bubi era amaanyi nga ganzigwamu. Neekakabye okugenda mu kaabuyonjo era ne nzirayo mu nnyumba.

Bwe ntuuse mu nju ngudde bugwi n’eddoboozi ne lifa. Okuddamu okutegeera nga ndaba abantu bayingidde mu nnyumba banjoolayoola kwe kusibira wano ku kitanda...” Bwe twayogeddeko n’omu ku basawo e Mengo, Kimuli yagambye nti tebannaba kukakasa kituufu oba abantu bano baaweereddwa butwa okuggyako nga baasoose ne basindika omusaayi gw’abalwadde mu kkeberezo lya gavumenti e Wandegeya naye nga baasobodde okubawa obujjanjabi obusookerwako era ne badda engulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.