TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Enzizi encaafu zezisibyeko ab’e Mukono endwadde’

‘Enzizi encaafu zezisibyeko ab’e Mukono endwadde’

By Henry Nsubuga

Added 3rd June 2019

ABANTU abakozesa amazzi agava mu nzizi mu kibuga Mukono bali mu katyabaga k’okulwala ebirwadde ebyekuusa ku bukyafu.

Nzizi1 703x422

Entuumu ya kasasiro ayiibwa waggulu w’oluzzi. Enkuba bw’etonnya yenna akulukutira omwo.

Bya Henry Nsubuga
 
 
ABANTU abakozesa amazzi agava mu nzizi mu kibuga Mukono bali mu katyabaga k’okulwala ebirwadde ebyekuusa ku bukyafu.
 
Kino kizuuliddwa mu kunoonyereza okwakolebwa abakugu mu kitongole ky’eby’obulamu mu Mukono Central divizoni bwe baakebera amazzi okuva mu nzizi 20 ne basanga ng’ezizi ezisinga zirimu obuwuka. 
 baana nga basena amazzi mu luzzi olucaafu Abaana nga basena amazzi mu luzzi olucaafu

 

 
Ow’eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Josephine Mbabazi yagambye nti mu 2017, baakola okunoonyereza ne bakizuula nti enzizi ezisinga mu Mukono Central divizoni zaali zivaamu amazzi agalimu obuwuka.
 
Mbabazi yagambye nti obuzibu buva ku bantu abazimbye okumpi n’enzizi zino ate nga ziri mu bikko nga abaazimba waggulu waazo ne basima zi kaabuyonjo, zivaamu obukyafu obukulukuta ne bwegatta mu mazzi ate abantu ge basena ne bakozesa n’okunywa nga n’abamu tebagafumbye.

 

 
“Oluvannyuma lw’okunoonyereza okwo, twakola alipoota gye twaweereza ku munisipaali, nga tusazeewo okuggala enzizi ezo naye twagenda okulaba ng’ate kyali kigenda kwongera kuleeta buzibu kuba ate abantu abazisenako amazzi baali tebalina gye bagenda kuggya mazzi.
 
Twabasomesa bettanire okugafumba” Mbabazi bwe yategeezezza.
Yagambye nti obuvunaanyizibwa bw’okuzimba enzizi oba okuziddaabiriza bwa bajjibwako okuva lwe baafuulibwa divizoni. Meeya wa munisipaali y’e Mukono, George Fred Kagimu yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa,ku buli nzizi 10 ezaakeberebwa, 8 ku zzo zirimu obuwuka ng’amazzi gaazo tegasaanidde kukozesebwa.
 nte nga zinywa mu luzzi Ente nga zinywa mu luzzi.

 

 
“Ye Dr. Simon Peter Nsingo, akulira eddwaliro lya Mukono Church of Uganda yagambye nti okumala ebbanga nga lya mwaka mulamba, babadde bafuna abalwadde abalina obulwadde bwa typhoid nga bangi nnyo nga kino bazze bakiteeka mu alipoota ze bawandiikira abakulu b’eby’obulamu ku munisipaali ne ku disitulikiti.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sharifah1 220x290

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi...

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga...

Kasozi 220x290

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA...

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya...

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...