TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakola oluguudo lwa Ntebe Express way balaze webatuuse

Abakola oluguudo lwa Ntebe Express way balaze webatuuse

By Benjamin Ssebaggala

Added 3rd June 2019

Abakola oluguudo lwa Ntebe Express way balaze webatuuse

Kab5 703x422

Ying. Patrick Ssenteza owa kkampuni ya CCC mu katono waggulu anyonnyodde omulimu wegutuuse

KAMPUNI y’Abachina ekola oluguudo lwa Ntebe Express  Way n’oluva e Kajjansi okudda e Munyonyo egambye nti kati balumalirizza ebitundu 96 ku 100 essaawa yonna bagenda kulukwasa gavumenti.

Ying. Patrick Ssenteza owa kkampuni ya CCC eri ku mulimu gw’okukola oluguudo luno abitegeezezza abamawulire nga bali mu kulambuzibwa oluguudo n’okulaga tekinologiya ow’omulembe aluliko.

Ssenteza yagambye nti okusomoozebwa okubaddewo kwekubeera nti ebitundu ebimu waliwo abantu abaalina okwemulugunya mu kuliyirirwa ne beesanga ng’enteekateeka eyalina okugobererwa eyimirizibwa.

Ayongeddeko nti balina gavumenti eyise etteeka eriwa obuyinza okusolooza abakozesa oluguudo luno balyoke baggale ebifo byonna ebizimbiddwa ku bifo nga Kajjansi, Mpala ne Busega webalina okusolooreza.

 tebe xpress way nga bwelufaanana kati Ntebe Express way nga bwelufaanana kati

Ekiseera kino obuzibu obuliwo nti abantu bagenda ne babba obupande obwebyuma obusimbiddwa ku kkubo okulagirira n’abamu ne basala akatimba ekiwadde ebisolo ng’ete n’embuzi okutayaayiza mu kkubo lino wezitakkirizibwa.

Ekyababbi abaali batandise okuteegerako abantu Ssenteza ategeezezza nti bakinogedde eddagala kubanga kati kubeerako kabangali za poliisi emisana n’ekiro nga zirawuna.

Oluguudo luno luliro km 36 okuva e Busega okugenda e Ntebe ekiyambyeko okukendeeza jaamu kubanga ku luguudo lw’e Ntebe olukadde jaamu abadde akwata emmotoka omuntu n’asanga ng’atambulidde essaawa bbiri okuva e Kampala okutuuka e Ntebe.

Gavumenti ya Uganda yeewola obukadde bwa ddoola 476 okukola oluguudo luno. Ng’oggyeko Entebe Express Way, kkampuni y’emu eri mu mulimu gw’okuzimba okugaziya ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.

Omulimu gw’okugaziya ekisaawe gwakuwemmenta obukadde bwa ddoola 325 nga gwakumala emyaka etaano. Gwatandika mu 2016 gumalirizibwa 2021

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko