TOP

Embeera ya Don Zella ekanze abawagizi be

By Martin Ndijjo

Added 5th June 2019

Nnalongo Don Zella awereddwa ekitanda embeera ekanze abawagizi be.

EMBEERA ya Nnaalongo Don Zella, omu ku bakyala abamanyiddwa okulya obulamu etabudde n’okweraliikiriza abooluganda n’abawagizi be bw’atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali bubi.

Obulwadde bwamugwiridde ku Lwakutaano nga yasoose kulowooza musujja n’amira eddagala kyokka yagenze okulaba ng’ayongera kutabuka kwe kumuddusa mu ddwaaliro lya Lahey hospital & Medical Center e Burlington, Massachusetts mu Amerika. 

Mu ddwaaliro bagenze okumwekebejja ng’obuzibu buli ku nsigo ze zombi ezimuviiriddeko obulumi obw’amaanyi.

Okusinziira ku basawo, ensigo ze zibaddetezikyakola bulungi nga baasoose kutegeeza nga bwe ziremereddwa kye baayise (Kidney failure) wabula baalaze nga bwe yabadde ‘yinfekisoni’.

We baamutwalidde mu ddwaaliro, Don Zella yabadde tasobola kutambula ng’akaaba obulumi obw’amaanyi.

Oluvannyuma lw'okudda engulu twayogeddeko naye ku ssimu wakati mu bulumi yategezezza nti wadde embeera tenaba kulongoka afunyewo ku njawulo entonotono nasaba abawagizi be okwongera okumusabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...