TOP

Ekisenge kya Namirembe Guest House kibasse

By Edward Luyimbazi

Added 6th June 2019

BAKASITOMA ba wooteeri ya Namirembe Guest House bakubiddwa ekisenge, babiri ne bafiirawo.

Guest 703x422

Omu ku booluganda lw’abaafudde.

Bya EDWARD LUYIMBAAZI NE DICKSON KULUMBA
 
BAKASITOMA ba wooteeri ya Namirembe Guest House bakubiddwa ekisenge, babiri ne bafiirawo.
 
Abaafudde ye, Albert Nkabahito ne Stella Jorobo ng’ekisenge
ekyabakubye kibadde kizimbibwa nga kye kyawula ekkanisa y’e Namirembe ne wooteeri ya Guest House. Kyagudde enkuba etonnya ku Lwokubiri.
 
Jonathan Kizito omu ku bakaawonawo yagambye nti baabadde n’olukiiko ku Keija Coffee Shop nga bali bataano ku ssaawa 9:00 ez’emisana enkuba n’etandika okutonnya.
 
Sarah Nakalema gwe baabadde naye yagenze ku wooteeri okufuna ekyokulya omu ku baweereza n’amutegeeza ng’akasiisiira bwe kaabadde katonnya nga ne kibuyaga
mungi ekitaabadde kirungi. Kizito agamba nti baasazeewo okuva mu kasiisira kano kyokka Jorobo n’abategeeza nga bwamanyi akayumba kano era tekalina
mutawaana.
 
Yagambye nti baabadde baakakavaamu ne babategeeza nga bwe kaggudde nga Jorobo kamugwiiridde ne Nkabahita ne bafa.
 
Geofrey Okobo okuva mu kitongole kya poliisi ekizikiza omuliro yagambye nti baayanguye okutuuka mu kifo kino ng’ekisenge kyakagwa kyokka baasanze abantu bamaze okufa.
 
Irene Nakasita omwogezi w’ekitongole kya Red Cross yagambye nti, akabenje kano kandiba nga kaavudde ku mazzi amangi agava ku ludda lw’Ekkanisa nga ge gaanafuyizza
ekisenge ekyazimbibwa waggulu wa wooteeri eno ne kigwiira abantu abaabadde mu kayumba k’akasiisira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...