TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukola oluguudo lw’e Namirembe luttukizza enkaayana

Okukola oluguudo lw’e Namirembe luttukizza enkaayana

By Hannington Nkalubo

Added 6th June 2019

OKUKOLA oluguudo lwa Namirembe lufuulibwe olw’ebigere kittukizza enkaayana z’ettaka, KCCA bwessiddwa ku nninga mu kkooti ennyonnyole engeri gye yayisa pulaani y’ebizimbe ebigambibwa nti byafunza oluguudo.

Namiremberd 703x422

Oluguudo olukolebwa.

Bya HANNINGTON NKALUBO
OKUKOLA oluguudo lwa Namirembe lufuulibwe olw’ebigere kittukizza enkaayana z’ettaka, KCCA bwessiddwa ku nninga mu kkooti ennyonnyole engeri gye yayisa pulaani y’ebizimbe ebigambibwa nti byafunza oluguudo.
 
Omusango ogumaze emyaka egisoba mu 12 nga guwulirwa mu Kkooti Enkulu
etawulula enkaayana z’ettaka ku Twed Tower, gwazzeemu n’ebbugumu wiiki
ewedde nga gwatuusiddwa omulimu gw’okukola oluguudo lwa Namirembe
Road.
 
Kkampuni ya Mugalaasi Holdings Ltd ettunka ne KCCA ku musango gw’okukkiriza abagagga okuzimba mu poloti ne balemesa emmotoka ezifuluma n’okuyingira mu ppaaka ya takisi eya Namirembe Road Bus Terminal.
 
 itaka Kitaka

 

Munnamateeka wa kkampuni ya Mugalaasi Holdings Ltd, John Mike Musisi yategeezezza kkooti nti kyannaku okulaba ng’abantu abamu abagambibwa okuba ne poloti mu kitundu kino era nga boogerwako mu musango naye ebbanga lyonna omusango lye gumaze nga guwulirwa tebalabikangako mu kkooti.
 
Musisi yagambye nti kkooti yabakkiriza okulanga Rose Kulabako mu mawulire era KCCA eteekwa okubannyonnyola engeri gye yakkiriza abagagga okuzimba mu kifo ekyo.
 
Enkaayana ku poloti eziri mu kifo kino zaatandika mu 2006, we baasalira poloti ezisoba mu nnya mu kifo ekyo abamu ku baalinawo ettaka ne beemulugunya
nti bazibye ekkubo.
 
Eyali akulira okutegekera ekibuga Stephen Kinyera yawandiika ebbaluwa nga awabula
nti ekifo ekyo tekikkirizibwa kuzimbwamu kubanga ebizimbe bigenda kuzibikira poloti endala kyokka eyali omumyuka wa Meeya Florence Namayanja kati omubaka wa Palamenti n’awandiika ebbaluwa endala nga September 27, 2006 ng’alagira nnannyini
poloti 215 akkirizibwe okuzimba.
 
Ebiwandiiko byagenda mu maaso n’okuwaanyisiganya okuva mu KCC y’ekiseera ekyo ne kkooti. Musisi yategeezezza nti ebizimbe mu kifo kino bizze bikyusa obwannannyini
ng’omuntu gwe bawawaabira bagenda okuwulira nti yatunze omusango n’aguvaamu.
 
Yagambye nti kkooti yassaawo ekiragiro ekigaana okutunda oba okusinga mu bbanka ekizimbe ekiri mu nkaayana okutuusa ng’omusango gusaliddwa.
 
ambye nti buli agula ekimu ku bizimbe mu kifo kino bw’ategeera nti omusango guli mu kkooti ng’akisinga mu bbanka nga bamuwa ssente ng’ava
ku musango.
 
Yagambye nti akavuyo akali ku luguudo lwa Namirembe kaasajjuddwa embeera y’abagagga abaazimba ne bazibikira poloti z’abalala nga baagala Omulamuzi abasalirewo.
 
Omu ku bakulembeze Salim Uhuru yagambye nti KCCA esaana emalewo enkaayana eziriwo ate n’obulippagano ebukoleko ng’egaziya ezimu ku nguudo enfunda n’okukola ezitannaba kumalirizibwa mu Kisenyi ne Kampalamukadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...

7031679624059851696890248511524775691026432o 220x290

Museveni ayanukudde abamuyeeya...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abamugamba nti akaddiye n’agamba nti si kituufu kuba akyalina embavu.

Komawo1 220x290

Abalamuzi bagobye abaakwatiddwa...

OMULAMUZI bwe yalabye ku Johnson Lubega omu ku bavubuka abagambibwa okutta Nagirinya, yagambiddewo abaserikale...