TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukola oluguudo lw’e Namirembe luttukizza enkaayana

Okukola oluguudo lw’e Namirembe luttukizza enkaayana

By Dickson Kulumba

Added 6th June 2019

KABAKA Ronald Mutebi II waakukola ekyafaayo bw’anaalinnya ku butaka bw’ekika ky’ekinyomo e Kyasa mu Buddu omulundi gwe ogusoose okulambula Obutaka bw’ebika bukya atuula ku Nnamulondo kati emyaka 25 egiyise.

Kabaka 703x422

Kabaka

Bya DICKSON KULUMBA
 
KABAKA Ronald Mutebi II waakukola ekyafaayo bw’anaalinnya ku butaka bw’ekika ky’ekinyomo e Kyasa mu Buddu omulundi gwe ogusoose okulambula Obutaka bw’ebika bukya atuula ku Nnamulondo kati emyaka 25 egiyise.
 
Okulambula Obutaka bw’ebika Kabaka waakukikola ku Mmande June 10,2019 ng’obutaka obulala bw’agenda okulambula kuliko obw’ekika kya Namungoona obusangibwa ku kyalo Birongo mu muluka gw’e Kasaka mu ggombolola ya Mutuba I Buwunga ate n’ekika ky’Ennyonyi Endiisa ekisangibwa mu ggombolola ya Mukiise
Mukungwe.
 
Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yategeezezza Bukedde ku Lwokusatu ng’enteekateeka eno bwe yava mu nsisinkano Kabaka gye yalimu n’abataka abakulu ab’ebika nga May 2-3,2019 nga baddamu okumusaba
asiime alambule obutaka ng’okusaba okwasooka kwaliwo emyaka ena emabega.
 
“ Kikulu kubanga guno gwe mulundi ogusookedde ddala Kabaka okulambula obutaka bw’ebika. Yasiimye okulambula kuno ng’atandikira Buddu n’obutaka bw’ekika ky’ekinyomo, Namungoona n’ennyonyi Endiisa.
 
Tusaba ebika byonna byeteeketeeke bulungi okwaniriza Omutanda,” Kiyimba bwe
yategeezezza.
 
Kiyimba yayongedde n’ategeeza nti, okulambula kuno kwa kwongera okutumbula ebyobulambuzi mu bika kubanga buli kika kirina ebifo eby’enkizo ebisobola okulambulwa ng’ekyetaagisa kwe kwongera okubikulaakulanya.
 
“Enteekateeka eno nnungi kubanga Empologoma etugguliddewo okulambula obutaka buno.Obutaka bwonna kumpi byabulambuzi nga buli kika kirina ebyafaayo eby’enkizo, era ebikulu ennyo omuntu bye yandisaanye okulambula.Eky’okubiri kwe kutuggulirawo abazzukulu okuddayo okulambula obutaka bwaffe,” Minisita Kiyimba bwe yategeezezza.
 
Essaza ly’e Buddu lirimu obutaka bw’ebika 10 okuli Omutima Omuyanja e Bbaale, Ekinyomo e Kyasa, Ente e Mulema, Ngabi Nnyunga e Bwende nga bino bisangibwa mu ggombolola ya Ssaabagabo Kyannamukaaka.
 
Ate Ngaali e Buzooba, Namungoona e Kasaka, Omutima Omusagi e Butale,Amazzi g’e Kisasi e Kajuna bisangibwa mu ggombolola ya Mutuba I Buwunga. Abalangira b’e Ssanje nabo basangibwa mu ggombolola Mutuba V Kakuuto.
 
OKULAMBULA BUDDU AKUTANDIKA JUNE 8, 2019
Mu nteekateeka eno ey’okumala ennaku ennya, Kabaka yasiimye okutandika okulambula Buddu n’okuggalawo empaka z’amaato ku Lwomukaaga nga
June 8, 2019 ku Nabugabo Sand Beach.
 
Empaka zino ziri wakati w’amasaza ga Buganda.
 
Ku Ssande June 9, 2019 Kabaka agenda kusabira mu Lutikko e Kako. 
Omulabirizi wa West Buganda, Bp. Katumba Tamale yategeezezza nga Kabaka bw’agenda okusimba omuti mu kifo kino era n’asaba abakrisitaayo bajje mu bungi ku lunaku olwo.
 
“Tuli basanyufu nti Kabaka asiimye okusabirako wamu naffe mu Lutikko e Kako.
 
Twetegese okumwaniriza era waakusimba omuti saako n’okutongoza akapande ak’ekijjukizo ky’okusinza kwe okw’olunaku olwo.
 
Abakulisitaayo bonna mbasaba okujja mu bungi,” Bp. Katumba bwe yategeezezza.
 
Ate ku Lwokubiri June 11,2019, Kabaka yasiimye okulambula eddwaaliro
ly’e Kitovu nga lino yaliweerezaamu ensimbi mu 2014-2016 okujjanjaba
abakyala abatawaanyizibwa obulwadde bw’okutonya era ayinza n’okusiima n’alambula Muteesa I Royal University e Kirumba - Masaka.
 
“Agenda kwongera kuggumiza omulamwa gw’okulwanyisa obulwadde bwa nnalubiri.
 
Obwakabaka nga bukolagana n’eddwaaliro lino bwajjanjaba abantu bangi era bangi bakyajjanjabibwa mu kifo kino,” Kiyimba bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...

Banja 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo...

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...