TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okwogera kwa Pulezidenti Museveni eri eggwanga 2019

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni eri eggwanga 2019

By Muwanga Kakooza

Added 6th June 2019

PULEZIDENTI Museveni asoomozezza ab’oludda oluvuganya gavumenti bayambe Bannayuganda okweggya mu bwavu n’agamba nti omukulembeze yenna atakola kino ne bw’aba wa ludda luvuganya taba na makulu.

Sona4 703x422

Museveni ng'ayogera mu lukiiko.

Bya MUWANGA KAKOOZA

PULEZIDENTI Museveni asoomozezza ab’oludda oluvuganya gavumenti  bayambe Bannayuganda okweggya mu bwavu n’agamba nti omukulembeze yenna atakola kino ne bw’aba wa ludda luvuganya taba na makulu.

     ''Omusingi gw’ebintu byonna bye nkoze ogusinga nagukola ndi ku ludda luvuganya gavumenti… Nze gwe mulaba naliko mu DP  era ne mu  UPC ne mbeerayo akaseera katono..’’’ Museveni bw’agambye. N’asomooza ab’oludda oluvuganya nabo okuvaayo beegatte ku lutalo lw’okulwanyisa obwavu mu bantu.

 useveni ngayanirizibwa omumyuka we sekandi muddiridde ye iiika adaga Museveni ng'ayanirizibwa omumyuka we Ssekandi. Amuddiridde ye Siiika Kadaga,ne Ssaabalamuzi Bart Katureebe.

 

        Museveni era asabye abakulembeze okuba abeetowaze basobole okutegeera obulungi ebizibu by’abantu baabwe mu kifo ky’okwetwalira waggulu.

Abadde ayogera ku mbeera eriwo mu ggwanga bw’abadde ku mikolo gy’okuggulawo olutuula lwa palamenti  ey’ekkumi ey’omwaka ogw’okuna. Museveni ayogedde ku nsonga nnyingi eziraga eggwanga nga bwerisenvudde mu by’enfuna kyokka n’agamba nti bannabyabufuzi abamu n’abali b’enguzi be bafuuse omuziziko gw’enkulakualana.

Awadde eby’okulabirako ebiwerako ebiraga nti eggwanga ligenda maaso n’agamba ebibiina bya pulayimale ebizimbe ebirungi mu masomero ga gavumenti biri 102,577 kyokka nga NRM weyajjira mu buyinza byali 28,000 byokka.

alt=''

 Museveni ng'alambula ennyiriri.

Omugatte gw’abaana abasomera mu masomero ga gavumenti mu pulayimale bali bukadde musanvu ng’agobwanannyini balinga akakadde kamu.

           Ate eby’okwerinda n’agamba eggwanga okuyita obulungi mu kulamaga kw’e Namugongo okumala emyaka nga tewali buzibu buguddewo kitegeeza nti poliisi n’amagye bikola bulungi emirimu.

Abambuzi abajja wano beeyongedde, ebyobulamu bitumbuddwa, enguudo

 

zizimbiddwa n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.