TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bwe kataligirya Aisha Nabukeera yandituuka ku lyengedde

Bwe kataligirya Aisha Nabukeera yandituuka ku lyengedde

By Benjamin Ssebaggala

Added 6th June 2019

Gashumba yagambye nti yakwatagana n’abantu abalala ne bayamba Nabukeera nga bakimanyi nti Mukama ajja kumuyamba aveeyo alwanirire abaana abalala abatulugunyizibwa.

Aisha3 703x422

Nabukeera e South Africa gye yagenze mu kutendekebwa.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA  

OMUKISA ne bw’oggalawo guyingira, woosomera bino Aisha Nabukeera ali South Africa mu kutendekebwa okwogera eri abantu mu ngeri ey’enjawulo.

Omukisa gwamuweereddwa ekitongole kya Bill and Melinda Gates Foundation bamubangule okumala emyezi esatu asobole okwogera eri ensi ng’annyonnyola by’ayiseemu n’engeri omuntu gy’asobola okubivvuunuka.

February 6, 2006: Nabukeera yafuna ekyekango mu bulamu ekitayinza ku muggwa ku mubiri, ku mutima ne mu bwongo nnyina (muka kitaawe) bwe yannyika olugoye mu mafuta n’amulagira alwambale akoleeze ettaala n’ayaka n’abumbujja era okuwona Katonda yazza bibye.

Wiiki ewedde yalinnye ennyonyi n’ayolekera South Africa. Okutuuka wano, aba Melinda and Gates Foundation bwe baasoma ebimukwatako kwe kumuyita bamuwe omukisa abitegeeze ensi.

Frank Gashumba azze alabirira Nabukeera okuva lwe yamuggya e Masaka nga nnyina omuto Sarafina Ndagire amaze okumwokya okutuusa lw’amalirizza emisomo gya ddiguli mu Uganda  Christian University.

Omuyimbi Joseph Ngoma yayimba akayimba nti: Bijja kutereera Mukama abimanyi ebyo byoyitamu era amazigago gafuuse ensonga, bijja kuba bulungi ….. kino kituukira ku Nabukeera amaziga geyakulukusanga olutatadde galabika gafuuse ensonga.

Gashumba yagambye nti yakwatagana n’abantu abalala ne bayamba Nabukeera nga bakimanyi nti Mukama ajja kumuyamba aveeyo alwanirire abaana abalala abatulugunyizibwa.

“Ekiseera kirabika nga kituuse Katonda n’ayanukula essaala zaffe nze nsinga kwesunga okulaba Nabukeera ng’ali ku ddaala ery’ensi yonna ayamba abaana abanyigirizibwa” Gashumba bw’annyonnyodde.

 abukeera wakati nga tanasitula ku kisaawe e tebe Nabukeera (wakati) nga tanasitula ku kisaawe e Ntebe.

 

OBULAMU BWA NABUKEERA:

Nabukeera ng’aweza emyaka 13, yanyumya nti Ndagire yamutuma agule amafuta g’ettaala ga Sh 200/-. Olwagatuusa awaka n’agannyika mu lugoye n’alumuwa alwambale, bwe yamutegeeza nti luwunya amafuta n’amukambuwalira ng’amulagira alwambale akoleeze ettaala.

Olwo lwe lunaku Nabukeera lwe yafuna ebiwundu by’omuliro ebyamuviirako enkovu eziri ku mubiri gwe okutuusa leero. Bwe weetegereza ebyali bigenda mu maaso n’olugoye lwe baamulagira okwambala, lwali lunnyikiddwa mu peterooli.

Bwekibeera nga Nabukeera eyafuna omukisa ebizibu ebyamutuukako ensi n’ebimanya yafuna okuwakanyizibwa n’okudibaga omusangogwe, olwo abaana abali eyo nga tebalina mukisa kulabika eri ensi kiki kye bayitamu!

Yafuna obujjanjabi ne bamulongoosa emirundi ena, oluvannyuma n’asobola okudda ku ssomero. Teyaddayo ku Nyendo Public School gye yali, baamuwa ekifo ku City Parents Primary School gye yatuulira P7.

 abukeera bwe yali yakookebwa Nabukeera bwe yali yakookebwa mu 2007.

 

Oluvannyuma Polof. Lawrence Mukiibi (omugenzi) yamuwa siniya yonna ku masomero ga St. Lawrence era gye yamalira S6 mu 2014.

2018 yafunye ddiguli mu Social Works and Social Administration okuva ku Uganda Christian University. September omwaka gwe gumu yatandise Aisha Nabukeera Foundation ng’aluubirira kulwanirira abo abanyigirizibwa mu maka.

Bw’omala okusoma byonna Nabukeera by’ayiseemu, osobola okufuna omutima ogusonyiwa ate n’oddamu essuubi nti ddala Katonda teyeerabira bantube.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...