TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte 2 ababba mu dduuka e Nansana ne batta abantu 3

Bakutte 2 ababba mu dduuka e Nansana ne batta abantu 3

By Joseph Makumbi

Added 7th June 2019

Obunyazi buno, bwakoleddwa abantu mukaaga abaabadde bambadde obukookolo ku maaso era basoose kuziba luguudo lw’e Nansana okumala eddakiika ezisoba mu 30 ne bakuba amasasi agasoba mu 100 oluvannyuma ne babulawo.

Wakhooli 703x422

Wakhooli agambibwa okuluka olukwe.

Bya JOSEPH MAKUMBI

ABEEBYOKWERINDA bakutte abasajja babiri abateeberezebwa okwenyigira mu bubbi obwakoleddwa ku Cheap Hardware e Nansana wiiki ewedde obwafiiriddemu abantu basatu emisana ttuku.

Abattiddwa kwabaddeko, Jimmy Atikuru, amyuka maneja w’edduuka lino eritunda ebizimbisibwa, Frank Aruho ne Amin Bugembe eyafudde oluvannyuma.

Obunyazi buno, bwakoleddwa abantu mukaaga abaabadde bambadde obukookolo ku maaso era basoose kuziba luguudo lw’e Nansana okumala eddakiika ezisoba mu 30 ne bakuba amasasi agasoba mu 100 oluvannyuma ne babulawo.

Kkamera za poliisi, baaziteze ebimotoka ebiwanvu okutangira okubakwata era n’ez’edduuka baakakasizza nti tekuli ebakwata kyokka, oluvannyuma, abeebyokwerinda baabazudde nga batandise okumansa ssente.

Bwe baamaze okubba n’okugabana omunyago, baayitiddeko mu bbaala emu nga tebanalinnya mmotoka kufuluma kibuga.

Omu ku babbi, yafulumye adda ng’ali Kenya, ate omulala yadduse ng’adda Bwera mu Kasese.

Ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) kyakutte eyakulembedde ababbi

eyategeerekeseeko erya Wakhooli ate ekitongole kya bambega abaketta mu ggwanga ekya ISO, nakyo ne kikwata eyakoze pulaani y’okubba yonna, Ismael Wakhooli amanyiddwa ennyo nga Masaba, omutuuze w’e Ndejje ku lw’e Ntebe.

Wakhooli eyakwatiddwa aba CMI, abadde mubbi wa lulango abbira ku luguudo lwa Jinja Road.

Ono abadde asinga kubba Bachina abajja mu Uganda okukola bizinensi ezitali zimu ate Masaba eyakwatiddwa aba ISO, kanyama abeera nnyo ku luguudo lwa William mu Kampala.

Aba ISO era baliko omusajja omulala eyategeerekese nga Meddie Bichurch gwe balinnya akagere nga kigambibwa nti, ono gwe baatuma ku Cheap Hardware okubaako by’agulawo ne yeetegereza abakuumi abaliwo, kkamera eziri mu kifo ne gye zitunudde, omuwendo gw’abantu abakola mu dduuka lino n’obuwanvu okuva poliisi w’eri okutuuka we bagenda okubba.

Meddie erinnya lye eddala terimanyiddwa kyokka banne baamukazaako lya Bichurch olw’ensonga nti ye yali yeegumbulira omuze gw’okubba Eklezia n’ekkanisa. Ono olwamala okubba n’addukira e Bwera kyokka ku Lwokusatu, yabadde akomyewo e Kampala aba ISO ne bamukwata.

EMMUNDU BAAZIGGYA MBALE

Masaba yagambye nti, emmundu ze baakozesezza mu bubbi, baaziggye Mbale era waliwo omusajja eyazibaleetedde.

Yagambye nti, buli lwe baba n’omulimu gwe bagenda okukola, omusajja ono y’azibaleetera.

Yagambye nti, omulimu gwe yasoma gwakukola migaati na kuzimba beekeeri kyokka engeri abakola emigaati gye bali abangi, yasalawo okufuuka kanyama omulimu gw’abadde akola emyaka 13 egiyise.

Agamba nti mu mulimu gwe gwa kukuuma ku bbaala era wano yamanya abantu bangi n’ebibinja by’ababbi era mwe yakwataganira yakwataganira ne Meddie Bichurch ne bafuuka ba mukwano.

Masaba agamba nti, y’abadde amanya we banabba kyokka teyeenyigira mu bubbi alinda bye babbye nga by’atunda n’afunako enjawulo. Emirimu gye, abadde agikolera ku Majestic Plaza mu Kampala we bamutwalira ebibbe n’atunda.

Agamba nti, obubbi bw’e Nansana yabumanyaako.

Masaba yagambye nti, abalala abaabadde mu bubbi buno kwabaddeko ayitibwa Papa, Omuwarabu omukubi w’ebikonde abeera e Nansana ayitibwa Abu n’omulala gwe baakazaako erya Whisper.

Yagambye nti, ekibinja kirimu n’omujaasi wa UPDF gw’amanyiiko erya Isma abeera e Masanafu mu Munisipaali y’e Lubaga. Agamba nti, Isma yagendako , mu Afghanistan oluvannyuma n’akomawo, Peter ne Festo kyokka bano, mu bubbi bw’e Nansana tebaabaddeko.

Yagambye nti, pikipiki ze baakozesa mu bunyazi nnene z’abasajja be baakazaako erya Zuku era emu nnannyini yo abeera Makindye ate endala ziva Ntinda, baziggyayo nga zigenda kukola mirimu bwe bamala nga bazizzaayo mu

kkava.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...