TOP

Gavt. eyanukudde abasuubuzi ku kasasiro

By Moses Kigongo

Added 7th June 2019

GAVUMENTI eyanukudde abasuubuzi abaginenya olw’engeri gy’ekuttemu ensonga za kasasiro.

Kasasiro 703x422

Katongole (wakati ) ng’alaga obutali bumativu bw’abasuubuzi b’ekibiina kya KATA ky’akulembera.

Bya Moses Kigongo

GAVUMENTI eyanukudde abasuubuzi abaginenya olw’engeri gy’ekuttemu ensonga za kasasiro.

Kino kiddiridde abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Kampala Traders Association (KATA) okuvaayo wiiki ewedde ne bavumirira abakungu ba gavumenti abaakulembeddwa minisita wa Kampala, Beti Kamya olw’okwongera kkampuni za kasasiro ezaakulembeddwa Nabugabo Updeal Joint Venture omwaka mulamba okugira nga zibayoolera kasasiro mu kibuga wakati nga bwe bamaliriza okukola ku nsonga y’endagaano empya ze basuubira okuwa kkampuni eziyoola kasasiro.

Abasuubuzi bano abaakulembeddwa Godfrey Katongole ssentebe wa KATA n’abasuubuzi okuva mu munisipaali za Kampala ettaano okuli; Makindye, Kawempe, Lubaga, Nakawa ne Kampala Central baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku kizimbe kya Ssekaziga ne balaga obutali bumativu ku nsonga za kasasiro ez’enjawulo omwabadde; ekya gavumenti okwesuulirayo ogwa nnaggamba nga kkampuni okuli; Nabugabo, Homeklin Services (U) Ltd. ne Kampala Solid Waste Management Consortium bakyagenda mu maaso n’okubasoloozaako ssente za kasasiro ze balumiriza nti zisoloozebwa mu bumenyi bw’amateeka.

Mu nsonga endala mwabaddemu; eky’okusaba gavumenti okutandika okubayoolera kasasiro nga yeeyambisa ssente z’omusolo ze bagamba nti zibasoloozebwamu n’ekigendererwa ky’okubakolera ku nsonga omuli, eza kasasiro, ebyobulamu n’okubagogolera emyala.

Kyokka ne balaga obwennyamivu nti ssente zino tezibayamba.

Bano era basabye Pulezidenti Museveni abakkirize okwesondamu ssente ensaamusaamu okusobola okumweyoolera bwe kibeera nga gavumenti eremereddwa.

Abasuubuzi bagamba nti bakooye okusibwanga ku poliisi olwa kasasiro, okukubwa n’okutiisibwatiisibwa abamu ku baserikale ba kkampuni ezimuyoola.

Wabula mu kubanukula, omuyambi wa minisita ku nsonga z’amawulire, Hassan Kasibante yasambazze ebyogerwa nti Kamya yayongedde kkampuni za kasasiro omwaka mulamba n’agamba nti si kituufu.

Yannyonnyodde nti mu kiseera kino bakyetegereza kontulakiti ezaaweebwa kkampuni zino n’ekigendererwa ky’okumalawo okusika omuguwa okuliwo wakati w’abasuubuzi n’abamuyoola.

Yabakakasizza nti ekiseera ky’okuddamu okugaba kontulakiti empya bwe kinaatuuka baakulanga mu mawulire bafune kkampuni ezinaabeera n’ebisaanyizo bye beetaaga zeewangulire omulimu guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...