TOP

Ab'e Ggaba beeraliikiridde okulumbibwa endwadde

By Sarah Zawedde

Added 7th June 2019

Bagamba nti obulamu bwabwe buli mu buzibu olwamazzi okubatwala oba okulumbibwa endwadde olw'emyala egibayitamu okujjula amazzi n'okubeeramu kazambi.

Ggaba 703x422

Omwana ng'ayita ku mbaawo ze baatadde ku mwala.

 
Bya SARAH ZAWEDDE
ABATUUZE b'e Katogo mu muluka gwa Ggaba e Makindye buli nkuba lw'etonnya emitima gibeewanika.
 
Bagamba nti obulamu bwabwe buli mu buzibu olwamazzi okubatwala oba okulumbibwa endwadde olw'emyala egibayitamu okujjula amazzi n'okubeeramu kazambi.
 
Ssentebe w'ekitundu, Kamada Kakooza yagambye nti, balina emyala ebiri eminene egibamazeeko emirembe. Enkuba bw'etonnya gijjula amazzi omujjudde kazambi ne kasasiro.
 
Kakooza ateesa nti, Gavumenti yandibadde evaayo ku myala gino eminene n'ebayamba okugisiba n'enkokoto n'amayinja amazzi gafune ekkubo erigatwala. Engeri amazzi gye gabeera amangi kyandibadde kirungi emyala okugibikkako okutangira abatuuze okuggwaamu. Mu kiseera kino abatuuze beeyiiya ne babikakko embaawo ku myala naye oluusi zivunda ne kissa obulamu bw'abantu abagiyitako ku bunkenke.
 
Yategeezezza nti omwala ogumu gukuluggusa amazzi okuva e Bbunga, Ggaba Mission , St Mbaga ne guyingira mu Katongo. N’omulala guva e Nabutitti Kansanga ne guyita mu Ggaba mu bitundu eby'enjawulo era nagwo ne guyiwa amazzi butereevu mu Katongo. Amazzi gano gajjiramu kazambi ne kasasiro emyala ne gijjula olwo amazzi ne ganjaala.
 
Obuzibu nti n'abatuuze oluusi enkuba bw'etonnya bata kazambi okuva mu kaabuyonjo zaabwe n'akulukutira mu myala.
 
Abalala kasasiro waabwe bamusuula mu myala amazzi gamutwale. Ekyennaku abaana abamu bazannyira mu mazzi gano nga kiteeka obulamu bwabwe mu buzibu bw'okukwatibwa endwadde.
 
Hamidu Mubiru omukulembeze w'abavubuka agamba nti kasasiro ono okusinga bubeera bucupa n'ebiveera.
 
Mubiru ayongerako nti yadde kasasiro ono asibira mu batuuze mulimu abeeganya okulongoosa nga beekwasa nti abalulembeze be balina okukikola.
Abakakiiko ka LCI oluusi batwala obuvunaanyizibwa bw'okulongoosa bwe bafuna abantu abalongoosa ne babasasulayo ku ssente .
 
Wabula twateekawo enkola nga buli Lwamukaaga tugogola emyala okukendeeza ku bucaafu mu kitundu n'okuyamba amazzi okutambula obulungi, Mubiru bw'agamba.
Patricia Nanteza Kansala akikirira omuluka guno agamba nti Bbanka y’ensi yonna eri mu nteekateeka za kumenya mayumba g’abatuuze abaliraanye emyala gino.
Yayongeddeko nti omwaka oguwedde mu October, abatuuze mu bitundu emyala gino gye giyita baatuula mu nkiiko n'aba Bbanka y'ensi yonna ne babasuubiza okubaliyirira nga tebanaba kubasengula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere