TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte abafera ssente ne baziyisa mu bbanka

Poliisi ekutte abafera ssente ne baziyisa mu bbanka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2019

Poliisi ekutte abafera ssente ne baziyisa mu bbanka

Sen1 703x422

Abamu ku bakyala abaakwatiddwa ne Mukiibi.

WAABADDEWO akasattiro ku ttabi lya Centenary Bank e Kawempe, poliisi eyigga ababbi eya Flying Squad ng’ekwata abagambibwa okubeera mu kibondo ky’abafere abakukusa ssente ne baziyisa ku akawunta z’abantu mu ngeri ey’obumenyi bw’amateeka.

Ekibinja kino kyabadde kikulirwa, Umar Mukiibi 36, omutuuze mu Bukasa Zooni mu Wakiso ng’akola bwa kitunzi mu kkampuni ya Labour World. Yakwatiddwa n’abantu abalala munaana b’agambibwa okukolagana nabo mu ddiiru eno.

Mukiibi ne banne baakwatiddwa ku Lwokuna oluvannyuma Poliisi y’e Kawempe ng’eri n’aba Flying Squad bwe baagudde mu lukwe nti, Mukiibi aliko ekibinja ky’abantu bakozesa okufuna ssente ezitamanyikiddwa gye ziva ng’aziyisa mu Centenary bank Okusinziira ku mateeka agafuga bbanka, ssinga omuntu afuna ssente nga nnyingi, abeera alina okunnyonnyola obuvo bwazo n’ensonga lwaki zisindikiddwa mu bungi zityo.

Kigambibwa nti amateeka gano gaateekebwawo okwewala abantu abayinza okuvujjirira omusimbi ebikolwa ebisekeeterera Gavumenti oba okuviirako okuleetera ssente z’eggwanga okunaabuuka.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti, Mukiibi n’ekibinja kye, babadde bakuhhanya abantu buli muntu n’amuwa 10,000/- ogw’okugulawo akawunti mu Centenary e Kawempe ey’okufunirako ssente kyokka ssente bwe zijja, nnannyini akawunti afunako 200,000/- okutuuka ku 300,000/- olwo Mukiibi ne banne ne batwale ezisigalawo.

Mukiibi lw’akwatibwa ab’ebitongole by’ebyokwerinda okuli; Flying Squard, poliisi ne crime Intelligence nga bamaze okufuna amawulire ne basalawo okulondoola ensonga eno ne bamukwata.

Baamukutte n’abantu abalala munaana be yaleetedde mu takisi nnamba UAP 621C okuva mu disitulikiti y’e Wakiso. Baamukwatidde mu Centenary Bank ku ttabi ly’e Kawempe ku Ttaano nga baamusanze n’obukadde 19 bwe yabadde amaze okuggya kuakawunti z’abantu be yazze nabo.

Omu ku baakwatiddwa, (amannya galekeddwa), yagambye nti Mukiibi yabatuukirira n’abagamba nti, alina ddiiru, ya ssente tebalina kye bateekamu wabula ye abatwala ku ttabi lya Centenary e Kawempe ne baggulawo akawunti, naye ssente zonna, eziteekebwa ku akawunti y’omuntu oyo gwe baleese afunako 200,000/- okutuuka ku 300,000/- ezisigadde ziba za Mukiibi. “Kino tuzze tukikola naye nga naffe tetumanyi ssente gye ziva ng’eringa bizinensi”. Abakwaatiddwa ne Mukiibi kwabaddeko bakazi okusinga era bo baayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

CENTENARY BANK EYOGEDDE

Wabula omukungu wa Centenary Bank, Michael Bulyerali yategeezezza nt Centenary Bank terina ssente za bakasitoma baayo zabbiddwa olw’ebikolwa by’abantu abaakwatiddwa e Kawempe. Yannyonnyodde nti bbo nga bbanka, kye baategedde ky’abantu abafuna ssente ez’akasiimo okuva mu gavumenti nga baabadde balina kuzifunira mu Centenary Bank ettabi ery’e Kawempe .

“Okusinziira ku bye batunnyonnyodde, kirabika waabaddewo ekkobaane mu kuggyayo ssente nga waliwo omutemwa ogw’okuwa aggyayo ssente,” bwe yagambye “ Abaafunye ssente bwe baagaanye okuzibawa kwe kuteekawo akavuyo ne baaggyayo emmundu naye byonna baabikoledde wabweru wa Banka” Bulyerali bwe yannyonnyodde. Ayongerako nti baakitegeddeko ng’abantu bano balabika bava mu bitongole byakwerinda n’atagaaza nti Bbanka, teyalumbiddwa nga bwe byasoose okufulumizibwa.

MUKIIBI AYOGEDDE Ng’ali ku poliisi, Mukiibi yagambye nti, ddiiru yabadde ya Moses Katamba gwe mbadde naakalaba emyezi ebiri emabega. Tuzze tusisinkana enfunda eziwera ne Katamba mu bifo okuli; City square mu Kampala ne Palamenti. Ku Lwokubiri lwa wiiki eno, yankubidde essiimu nahhamba nti, waliwo ddiiru nga buli muntu akkiriza okuggulawo akawunti, agenda kufuna 4,980,000/- wabula teyambulidde ssente zino gye zaavudde.

Yahhambye nti, obuvunaanyizibwa bwange kuteeka mukono ku lupapula oluggyayo ssente (withdraw slip ) ate obubwe bwa kukunga bantu okuva mu bitundu ebitali bimu. “Amazima abantu bano bonna mbalabidde ku bbanka era mbadde sibalabangako kuba Katamba y’abadde asinga okubeera nabo,” Mukiibi bwe yategeezezza.

POLIISI KY’EGAMBA Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, yagambye nti Mukiibi akuumibwa ku poliisi e Kawempeyaguddwaako omusango ku fayiro nnamba; GEF:11/2019. Okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula ku wa Mukiibi gy’abadde aggya ssente.

N’ekirala kiteeberezebwa okuba nti ekibinja Mukiibi ky’akolagana nakyo kigazi kinene. Yagasseeko nti abaakwatiddwa ne Mukiibi bafuuse bajulizi mu musango guno. Abantu basiimye poliisi y’e Kawempe olw’obukugu n’obwangu bwe yakozesezza okulondoola n’okukwata Mukiibi n’ekibinja kye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...