TOP

Ab'ebibanja mukolagane n'abakulembeze-Museveni

By Muwanga Kakooza

Added 9th June 2019

Ab'ebibanja mukolagane n'abakulembeze-Museveni

Sevo1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ali ku bikujjuko by'okukuza olunaku lw'abazira e Kasanje mu Wakiso

PULZIDENTI Museveni asabye ab’ebibanja okukolagana n’abakulembeze baabwe omuli ne bannabyabufuzi okulwanyisa ab’amattaka ababagobaganya ng’agamba nti ababagoba bakikolera bweru w’amateeka.

Ate akulira  abazirwanako mu lutalo lw’ekiyekera e  Luwero Haji Edrissa Sseddunga naye alopedde Pulezidenti Museveni nti abawagizi ba NRM babayigganya okufa mu Kampala n’emirirwano n’agamba nti omuntu okwambala akajoozi aka kyenvu bamuvuma okufa oluusi n’okumukuba. Ssedunga yewunyizza kino engeri gye kiyinza okubeerawo nga gavumenti ya NRM y’eri mu buyinza !.

Bino  babyogeredde  Kasanje okumpi n’e Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso bwe  babadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abazira ( June 9).

Ku lunaku luno mu 1981 e Luwero amagye ga Milton Obote eyali mu buyinza mu kiseera ekyo  kwe gatirumbulira abantu mwenda abaali abawagizi b’abayekera ba NRA Museveni be yali akulira  nga balwana okuggyako gavumenti kye batuukiriza mu 1986.

Ku mukolo guno abantu abasoba mu kikumi okwabadde n’eyali akulira ekibiina ky’abayekera ekirala ekyali kirwanyisa Obote ekya ‘’Uganda Freedom Movement’’ omugenzi Dr. Lutakome Kayiira bawereddwa omudaali gw’obuzira

Era n’abavubuka be Wakiso kwe basinzidde okusaba  b Museveni aleme kuvuganyizibwa mu kakungunta ka NRM addemu yesimbewo ku bwa Pulezidenti mu 2021  kye yakkirizza n’assa omukono ku kipande kyabwe ekyabaddeko ebigambo ebyo.

Museveni yasuubizza nti oluguudo oluva e  Mpigi- Kasanje- Nakawuka okutuula e Kisubi ku lw’e Ntebe lugenda kukubwa kkolaasi. N’ayongera nti n’olw’e Busabala nalwo lwakukolwa. Yagambye nti waliwo n’entegaka z’okukola olutindo okuva e Ntebe okugenda e Nakiwogo. Yakunze abantu okweyambisa ebibanja byabwe n’ettaka okulima n’okulunda bave mu bwavu abatalina bakole emirimu emirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...