TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi atabuse ne bba ne yeekumako omuliro ne bbebi

Omukazi atabuse ne bba ne yeekumako omuliro ne bbebi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2019

Omukazi atabuse ne bba ne yeekumako omuliro ne bbebi

Kip1 703x422

NABBOSA yasoose kuyomba ne bba era mu busungu obungi n’akwata ebintu by’omu nnyumba n’atandika okubyasaayasa! Omusajja teyategedde nti eno yabadde ntandikwa y’omukazi okwekumako omuliro n’omwana waabwe bombi ne basirikka nga n’aba LC balaba!

BAASOOSE KULWANIRA MWANA

Alex Lukyamuzi ne Cathy Nabbosa babadde bamaze emyaka etaano nga bali bombi mu bufumbo era nga basula Kasubi mu Zooni 3 mu Kampala. Wano we baazaalira n’omwana waabwe Anita Nampijja abadde yaakaweza emyaka ena era ono ye yafudde ne nnyina mu ntiisa.

Baliraanwa bagamba nti abafumbo bano babadde batera okuyomba n’okulwana nti era emirundi egisinga ng’omukazi akuba bba kubanga abadde amusinza ekiwago.

Lukyamuzi musuubuzi w’amagi e Nansana ate omukazi abadde abeera waka nga takola. Kigambibwa nti Nabbosa abadde mukazi mucakaze era olumu ng’atera okugenda mu bifo ebisanyukirwamu okuli ne bbiici n’alya ku bulamu, nti kyokka bino nga binyiiza nnyo bba ng’ateebereza nti waliwo abasajja abapaaza mukazi we nga be bamutwala mu bifo ebyo. Mu kiro ky’Olwomukaaga, Lukyamuzi yakomyewo awaka ng’ava ku mulimu era yasanze mukazi we ali mu nnyumba.

Olutalo lwatandise ng’omusajja anenya omukazi okuva awaka n’agenda mu bbaala, ekintu ky’aludde ng’amugaana. Nti kino omusajja yakyesigamizza ku kusanga mukazi we ng’awunya omwenge era ekyaddiridde luyomboolw’amaanyi nti omukazi n’akuba omusajja era omusajja n’addukira ebweru w’ennyumba.

Christine Namubiru omu ku baliraanwa yagambye nti emirundi mingi Nabbosa abadde akuba Lukyamuzi omusajja n’addukira ebweru. Namubiru yategeezeza nti ne ku lunaku lwa Paasika era Nabbosa yatabuka n’asibira Lukyamuzi ebweru okutuusa lwe baamwegayirira n’amuggulira ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ne bagamba Lukyamuzi agende ku poliisi aloope wabula n’agaana ng’agamba nti mukazi we amwagala nnyo.

Namubiru yagambye nti omusajja era abadde ayagala nnyo omwana we era nga buli lwe balwana, nga Lukyamuzi asaba omukazi amuwe omwana we agende naye, wabula ng’omukazi abigaana. Ne ku mulundi guno, bwe baalwanye, omusajja yagezezzaako okuggya omwana ku nnyina wabula omukazi n’amulemera.

 

Olwo omukazi yabadde ayasaayasa buli ekiri mu nnyumba era omusajja mu kugezaako okulwanira omwana yabadde agamba nti nnyina asobola okumutuusaako obuzibu. Lukyamuzi yategeezezza aba LC nti we yasaliddewo okudduka abayite, ng’alaba mukazi we atabuse nnyo.

Aba LC nga bakulembeddwa Ssentebe Edward Bbosa baatuuse, wabula baasanze Nabbosa amaze okwesibira mu nju n’omwana we era ng’akyagenda mu maaso n’okwasaayasa ebintu.

Baagezezzaako okumukkakkanya nga bwe bamusaba waakiri aggulewo eddirisa ayiseemu “Bbebi” (omwana) asooke amubaweereze kubanga ebintu by’ayasa, bisobola okumukosa.

Kino omukazi yakigaanye era yaggyeeyo “sitoovu” gye babadde batera okufumbirako caayi, n’akozesa amafuta agaabadde gaasigalamu n’agamansa mu nnyumba. Omufaliso ogwabadde mu kisenge yaguggyeeyo n’aguteeka mu ddiiro era amafuta agasinga yagayiye ku mufaliso ogwo.

Oluvannyuma yafunye ekibiriiti n’akoleeza omuliro. Olwo essaawa zaabadde ziri mu 5:00 ez’ekiro ng’abakakiiko ka LC bali bweru gabeesibye. Aba LC n’abatuuze bwe baawulidde ng’omukazi akoleezezza omuliro ne bongera amaanyi mu kumenya ennyumba waakiri bataase omwana, naye tekyasobose. Baakozesezza amazzi okukkakkanya omuliro nga bwe bakoona ennyumba wabula baagenze okutuuka ku mukazi n’omwana we nga bafu.

Ekyaddiridde miranga era Lukyamuzi kyamususseeko ne bamuggyawo ng’alinga awunze. Poliisi yatuuse era emirambo gyombi ne giteekebwa ku kabangali ne gitwalibwa mu ggwanika e Mulago.

BAZADDE B’OMUWALA BATABUDDWA Florence Nakiguli maama omuto owa Nabossa yategeezezza nti bulijjo Lukyamuzi bw’afuna obuzibu ne muwala we ne bwaba talina budde bugendayo, waakiri amukubira essimu n’amubuulira kyokka ku luno talina wadde kintu kye yamugambye, okuggyako okuwulira amawulire g’okufa. Nakiguli era yategeezezza nti Lukyamuzi muvubuka mugonvu ate nga babadde baagalana nnyo ne mukyala we era yeewuunyizza Nabossa obusungu gye yabuggye.

Rajab Bbosa, kitaawe wa Nabbosa yeewunyiza muwalawe abadde amubuulira buli akamutuukako ate obusungu gye yabuggye okwetta. “Nze kino nkifumitiriza nga sikitegeera kubanga bulijjo muwala wange ankubira essimu ku busonga obutono, naye mazima ddala leero kiki ekyamutuusiza ku kino nga talina gw’abuuliddeko!” Bbosa bwe yagambye.

Erinnya lya Nabbosa ery’eddiini yali ayitibwa Shamirah kyokka bwe yafuna Lukyamuzi n’akyusa erinnya n’afuuka Cathy, ng’akyusizza eddiini. Peter Tamale Ssentebe w’omuluka gw’e Kasubi yavumiridde ebikolwa by’obutabanguko mu maka n’agamba nti bivaako okusaanyaawo n’obulamu bw’abaana abatalina musango.

Bbosa Ssentebe w’ekyalo yavumiridde eky’okukozesa ebintu ebitamiiza n’agamba nti omwenge Nabbosa gwe yabadde anywedde guyinza okuba nga gwe gwamuwadde obuvumu okweyokera mu nnyumba n’omwana. Nabbosa azaalibwa Kibibi - Butambala era gy’anaaziikibwa ate omwana waakuziikibwa Masaka gye bazaala Lukyamuzi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti omukazi abadde akola ebintu bingi okulumya omusajja nti era n’okulemera omwana yabadde agezaako kulumya musajja wabula okwekumako omuliro n’omwana, kyabadde tekisuubirwa.

Mu poliisi bye yazudde mulimu ne sitoovu Nabbosa gye yaggyeemu amafuta ge yakozesezza. Wiiki ewedde, Lydia Kyomuhangi e Mbarara yatemyetemye abantu 7 okuli n’abaana n’abatta, wabula ono kyazuuliddwa nga yabaddeko ekikyamu ku mutwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal