TOP

Ssempijja akolimidde abaamuyisizza ku litalaba

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2019

Ssempijja akolimidde abaamuyisizza ku litalaba

Sab1 703x422

EBYA Tonny Ssempijja tebiggwa. Ennaku zino bw’omukubira essimu adda mu kukolima nga yeekokkola abategesi b’ebivvulu b’azze alwanirira okumuyitamu.

Omanyi Ssempijja ye mukwanaganya w’ekibiina kya UMP-NET ekigatta abategesi b’ebivvulu, bannannyini bifo ebisanyukirwamu n’abayimbi era yazze okulemberamu abantu bano okugenda ewa Gen. Saleh oluvannyuma eyabatuusa mu State House ewa Pulezidenti Museveni okwanja ebizibu byabwe.

Kyokka olugendo olwasembayo ebintu we byatandikira okumwonoonekera abantu ab’enjawulo mu kisaawe ky’okuyimba ne katemba ne batandika okumukuba amagi amavundu ne batuuka n’okumuyita bbulooka wa buli kintu ne bamulangira n’okutta ekisaawe ky’okuyimba.

Olw’okuba ddiiru yali agigusizza, Pulezidenti yakkiriza okubawa akawumbi kamu n’obukadde 800. Kyokka obubonero bwe bugenze bulaga nti ssente zigenda kuvaayo, Ssempijja ne bongera okumukuba ekikono era gye byaggweeredde nga baziyisizza ku akawunti z’abategesi b’ebivvulu.

Ssempijja yagambye nti bano baali baamusuubiza okumuwaayo akantu kyokka bwe baamaze okufuna ssente zino wiiki ewedde ne bamwesamba.

Obwedda buli amukubira essimu ng’akolima nga bw’agamba ndi wano ntudde ku Pope Paul nninda basajja bampe ku ssente naye tewali annyega. Kyokka waliwo atugambye nti yafunye ssente ate abalala ne bamulangira okwogera ennyo n’oluusi n’ava ku mulamwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.