TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabavvulu Balaam adduukiridde ab'e Masindi n'obukadde 30 zibayambeko mu kwekulaakulanya

Ssaabavvulu Balaam adduukiridde ab'e Masindi n'obukadde 30 zibayambeko mu kwekulaakulanya

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2019

Ssaabavvulu Balaam adduukiridde ab'e Masindi n'obukadde 30 zibayambeko mu kwekulaakulanya

Bam1 703x422

Balaam ng'ali n'abamu ku batuuze b'e Masindi nga bamwebaza okubeera n'omutima omugabi

OMUTEGESI w’ebivvulu Balaam Barugahara awadde ab’e Masindi sente basobole okukola ku bizibu byabwe bye baategeezezza pulezidenti Museveni bwe yabaddeeyo ng’alambula enteekateeka za bonnabagaggawale.

Yawaddeyo obukadde 30 eri ebibiina ebyenjawulo e Masindi ne Hoima ng’omuwagizi wa Museveni n’agamba nti yalabye abantu nga basaba pulezidenti bwe yabadde akubye olukung’aana e Kyatiri Masindi omwezi oguwedde so n’alaba ng’asobola okukwasizaako pulezidenti okutuusa obuyambi bw’ensimbi zino eri abantu.

“Nkozesa sente zange okusasula abamu ku bantu bano kubanga bwe baabadde mu lukung’aana baamusabye okubayamba ne mmutegeeza nti obweyamo buno obumu nsobola okumuyambako okubutuukiriza” Balaam bwe yannyonnyodde.

Ofiisi ya NRM e Masindi yabawadde 5,000,000/- , aba Dove Football Club e Masindi n’abawa 1,000,000/-, Masindi Youth Cooperative baafunye 4,000,000/- Gilbert Nyadiri yeeyazikutte, Obulabirizi bwa Masindi Kitara 5,000,000/- zakwasiddwa Rev. Samuel Kwesiga, Kijuura market vendors 2,500,000/-, Zam Atuhairwe yakutte eza Kirasa market vendors 2,500,000/-, Booma Football Club 1,000,000/- n’omuzikiti gwa Masindi Town Mosque 5,000,000/ baazikwasizza Kasim Mugisa-

Aba ofiisi ya NRM e Masindi baali bategeezezza pulezidenti nti bababanja sente z’okupangisa ofiisi obukadde mukaaga era ku zino Balamu yasasuddeko obukadde butaano ng’amaze okukwatagana ne Kabakumba Masiko sentebe wa NRM e Masindi n’agamba nti akikola ku lwa pulezidenti n’abantu b’ekitundu gy’asibuka

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana