TOP

Rwanda eggudde ensalo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2019

Rwanda eggudde ensalo

Rwa2 703x422

Owa UPDF ku nsalo e Kyanika ng’alagirira abeebidduka.

RWANDA epondoose n’eggula ensalo yaayo ne Uganda e Katuna ne bakkiriza n’emmotoka ennene ezitambuza ebyamaguzi okusala ensalo. Kyokka Pulezidenti Paul Kagame awadde obukwakkulizo ensalo egguddwaawo kiseera buseera okumala wiiki bbiri okuva June 10 okutuuka June 22 2019.

Akulira Media Centre Ofwono Opondo yategeezezza nti Uganda yafunye ebbaluwa mu butongole eraga nti bagguddewo ensalo okumala ekiseera kyokka yabadde tannaba kukakasa oba emmotoka za Uganda ezitambuza ebyamaguzi banaazikkiriza okuyingira e Rwanda. Opondo yagambye nti ensonga ezisinga abakungu ba gavumenti ya Rwanda ze babadde bawa nti ze zaaggazaawo ensolo ziraga nti ssi beesimbu n’ayongera okunnyonnyola nti Uganda kesuubire nti okuggulawo ensalo kuno okw’ekiseera kyakwoleka emirimu emirungi era tewali busongasonga bujja kumerukawo.

Rwanda yaggala ensalo yaayo ne Uganda ku nkomerero ya February omwaka guno oluvannyuma lw’okulemwa okukkaanya ne Uganda nga Rwanda erumiriza nti Uganda ewagira abayeekera abaagala okuggyako gavumenti ya pulezidenti Paul Kagame. Wano we baasinziira ne bawa obukwakkulizo nga bwe waliwo Bannansi ba Rwanda be baali baagala Uganda ebakwate okuli omugagga Tribert Rujugiro Ayabatwa omusuubuzi wa taaba. Uganda yagaana obukwakkulizo bwa Rwanda.

Okusinziira ku mukutu gwa New Times e Rwanda gw’ategeezezza nti ekitongole ekiwooza omusolo ekya Rwanda Revenue Authority (RRA), ensalo bagigguddewo okumala wiiki bbiri nga bagezeza ekifo ekipya kye baakaggulawo we bagenda okusolooleza omusolo.

Minisita w’ensonga z’ebweru mu Uganda, Sam Kuteesa yasinzidde Kampala n’ategeeza nti ebya Rwanda okuggala ensalo baabagwako bugwi baali tebakisuubira era n’abebyokwerinda abasala ensalo okuva e Rwanda okuyingira Uganda baali bakikola mu bumenyi bw’amateeka.

ENSONGA EZIWALIRIZZA RWANDA OKUGGULAWO ENSALO

Rwanda ebadde efiirwa ssente nnyingi okuva lwe baggala ensalo kuba ebyamaguzi ebisinga ebiva mu Uganda byali biyitira ku nsalo y’e Katuna. Wadde nga wabaddewo okwekangabiriza, kyokka kigambibwa nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’emisolo ekya Rwanda RevenueAuthority kibadde kifiirwa nnyo ssente ze baali baateeka mu mbalirira. l Bannansi ba Rwanda banyigiriziddwa ekimala.

Ebyamaguzi ebisinga e Rwanda babijja mu Uganda era ekikolwa ky’okuggala ensalo kibadde kikosezza nnyo obulamu bw’abantu omuli n’abayizi abasomera mu Uganda. Abantu bangi babadde batuuka n’okubulwa emmere ate abalala nga bagikukusa n’ebyetaago ebirala wadde nga gubadde musango.

 Uganda yagaanyi okukuba Rwanda entiisa Okusinziira ku munnamawulire Andrew Mwenda yategeezezza nti omwaka oguwedde pulezidenti Paul Kagame yamutuma amugambire Pulezidenti Museveni nti si be bajja okusooka okukuba essasi erisooka. Kyokka obubaka bwe yabutuusa ewa Museveni yamuddamu nti kijja kubeera kya busiru okulwana ne Rwanda. Abatunuulizi bagamba nti ekikolwa ky’okuggala ensalo kyali kisuubirwa nti kijja kutabula Uganda eve mu mbeera.

Rwanda yawalirizza okubiggyamu enta olw’okuba Uganda ebadde tevaamu kigambo. l Abakulembeze b’amawanga ga Afrika bangi baayingidde mu nsonga y’okuggala ensalo naddala pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta eyakyalirako abakulembeze b’amawanga gombi n’abawa obubaka bw’okukonjoola ensonga mu mirembe.

 Rwanda ne Uganda baaluganda Nga bwe bagamba nti abooluganda bita bwe bikoonagana tebyatika ne nkolagana y’amawanga gombi si nnyangu yakumalawo. Ebyenfuna n’obuwangwa bw’abantu birina akakwate kuba Abanyarwanda bwe bafuna obuzibu mu Uganda gye basinga okubudama.

Bangi ku bafuga Rwanda mu kiseera kino omuli ne Pulezidenti Kagame baasooka kubeera mu Uganda era beetaba butereevu mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRA mu buyinza. Wadde nga bazze bafunamu bumulumulu, kyokka basigala nga baamukago.

Paul Kagame eky’okubeera nga ye Pulezidenti w’omukaga gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika abadde alina okubeera ekyokulabirako eri amawanga amalala. Mu kiseera kino enkiiko ze babeeramu amawanga gonna gatambulira mu kya kukuuma mirembe ekintu ekibadde kimulabisa obubi.

Okulabula kwa Uganda kw’ezze ekola ku balabe baayo nga lumu pulezidenti yalabula bonna abaagala okutabangula Uganda tebamanyi maanyi gaayo. Singa basitukiramu tebalina mukisa gwonna guyinza kulama.

Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Sam Kuteesa naye yavaayo n’alabula Rwanda obutereevu bakomye okusosonkereza Uganda. Kyaddirira abasirikale ba Rwanda okutta abantu babiri okwali ne Munnayuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba