TOP

Amagye gakubaganye amasasi olwa Mbabazi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2019

Amagye gakubaganye amasasi olwa Mbabazi

Mba3 703x422

Mbabazi

WABADDEWO okusattira amasasi bwe gavuze abaserikale abakuuma Christine Umuhoza Mbabazi eyali muninkini w’omugenzi Felix Kaweesi bwe baasowaganye n’abajaasi abalala emmundu ne zivaayo. Mu kanyoolagano kano, omukuumi wa Mbabazi eyategeerekeseeko erya Albert yakubiddwa amasasi.

Yabadde asigadde mu mmotoka nga banne bawerekedde Mbabazi mu ddwaaliro lya Agali Top Clinic e Mutundwe, ewa Dr. Nelson Mutyaba. Bino, byabaddewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi.

Bwe baatuuse ku ddwaaliro, abakuumi ababiri baavuddemu ate munnaabwe n’asigala mu mmotoka. Obutatiisa bantu, emmundu baazirese mu mmotoka ne Albert ng’azikuuma n’emmotoka ne bagitwala emmanju w’emu ku nnyumba eziriraanye eddwaaliro. Abasajja abagambibwa okubeera aba LDU abakuuma ekitundu, Albert baamusanze mu mmotoka ng’asowodde ne bamulagira okubawa emmundu.

Kigambibwa nti bwe yalabye abamusaba emmundu ba LDU, yabayisizzaamu amaaso era yabadde tannamalayo by’abagamba nga bw’ali omuserikale, omu n’amubandagaza essasi mu kugulu. Embeera yabadde ya bunkenke e Mutundwe, eyaleetedde abatuuzeokwesibira mu mayumba gaabwe n’okubuna emiwabo olw’okubwatuka kw’amasasi mu kitundu.

Joyce Luyima, omu ku baabaddewo ng’amasasi gavuga agamba: Emmotoka eyakubiddwa amasasi z’ezino ezaakazibwako erya 100, nnamba UAM 356P. Yabadde eyimiridde emabega w’edduuka ly’omutuuze omu eriri e busukkakkubo w’eddwaaliro lya Agali Top Clinic.

Mwabaddemu omusajja ng’atudde ng’ali mu ngoye za bulijjo, naye nga kirabika alina abantu baalinze. Tetwategedde bulungi buzibu bwabaddewo, wabula twalabye abantu bali mu ngoye za bulijjo nga bali ku mmotoka ekyaddiridde kubwatuka kwa masasi ne tubuna emiwabo ate abalala ne tudda mu bumooli okulaba ekigenda mu maaso.

Abasajja abaabadde munda mu kalwaliro baafulumye nga bawanise emikono waggulu ne kaadi z’emirimu gyabwe ne batandika okwennyonyolako. Twagenze okulaba nga baggyamu omusajja mu mmotoka nga bamuyingiza mu kalwaliro nga yenna atiriika musaayi, nga bamukubye amasasi mu kugulu, awo ebyaddiridde tetwabitegedde, anti ng’abaserikale okwabadde abamagye abali mu yunifoomu ne leeya, LDU nga bateevuunya nga munyeera ng’oyinza okulowooza waliwo omuyeekera, ate ng’emmundu zonna ziri bulindaala.

Abatuuze bakung’aanye okulaba ekigenda mu maaso, omulwadde ne bamulemera mu kalwaliro nga tewali muntu akkirizibwa kuyingirayo olw’obukuumi obw’amaanyi obwabaddewo, twakitegedde nkeera nti baaleese emmotoka ne bamutwala ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro. Embeera eno eyongedde okuteeka obulamu bwa Mbabazi ku bunkenke n’okweraliikirira nga kati alowooza nti wandiba nga waliwo olukwe lw’okumutta, kubanga yeewuunya engeri abantu gye baamulondodde okukuba amasasi ate nga bakuumaddembe.

Omu ku ba nnansi abakola mu kalwaliro kano, ataayagadde kumwatuukiriza mannya agambye nti, abantu bano olwamaze okukuba amasasi ne bayingira mu ddwaaliro munda ne batandika okubuuza omukazi eyabadde aweereddwa ekitanda mu kasenge mw’ali. Kyokka abakuumi baabadde bamaze okwekengera olw’okubwatuka kw’amasasi nga bamusibidde mu kasenge ak’enjawulo era baavuddewo tebamulabyeko, ekyatulaze nti wandiba nga waabaddewo ekigendererwa ekirala.

Bbaale Francis, ssentebe wa zooni ya Kweba e Mutundwe we baakubidde amasasi agamba; ekiseera we baakubidde amasasi saabaddewo, bantegeezezza ne nzija nga bimaze okukkakkana. Ebimu ku bye nnawulidde nti waabaddewo aba LDU abaabadde balawuna ekitundu abaalabye emmotoka erimu emmundu ate ng’eyimiridde mu kifo kimu, kwe kutemya ku bakama baabwe abazze ne bakuba amasasi. Ekyewuunyisa, ffe abakulembeze b’ekitundu tetwategeezeddwaako nti waliwo ekintu mu kitundu ate n’ekirala tubasuubira okuba n’obukugu obw’amaanyi okusooka okunoonyereza nga tebannakuba masasi kusasamaza bantu baffe. Shaban Mugyenyi, atwala poliisi y’e Mutundwe agamba:

eyakubiddwa amasasi teyabadde muntu wa bulijjo, mujaasi wa kitongole kya byakwerinda ekya waggulu mu ggye lya UPDF. Waliwo misoni eyabadde egenda mu maaso mu bitongole bya UPDF ebinene, eyakubiddwa essasi yabadde alina omuntu gw’awerekeddeko okufuna obujjanjabi mu bitundu by’e Mutundwe, kyokka mbu waabaddewo omuntu eyatemezza ku kitongole ekirala ne bajja ne bamukuba amasasi mu kugulu.

Bwe baakitegedde nti ba Luganda mu byokwerinda, ne basalawo ensonga zaabwe okuzikwasaganya era ffe nga poliisi ne batulagira tuzibalekere nga tewali kisingako awo kye twabadde tuyinza kwongera mu maaso ne tuzirekera bakama baffeera nsuubira baazitereezezza bulungi n’eyakubiddwa amasasi n’atwalibwa okufuna obujjanjabi.

Dr. Nelson Mutyaba, ow’eddwaaliro lya Agali Top Clinic agamba; ekiseera we baakubidde amasasi saabadde ku Clinic, bankubidde ssimu ne nzija, natuuse nga Albert avaamu omusaayi mungi. Namukozeeko era we baamutwalidde ekiro ng’avudde mu mbeera embi. ABEEBYOKWERINDA BAKUBAGANYE EMPAWA Guno, si gwe mulundi ogusoose ebitongole by’ebyokwerinda okulwanira Mbabazi. Mu October wa 2017, abajaasi ba ISO abaali bakuuma Mbabazi, baabulako katono okwekuba amasasi n’abaserikale ba poliisi okuva mu Flying Squad abaali baduumirwa Herbert Muhangi.

Embeera eno, yawaliriza pulezidenti okusindika abamu ku basajja be abamukuuma okuzza embeera mu nteeko era okuva olwo, Mbabazi abadde akuumibwa SFC. Kyokka eggulo, bwe twatuukiridde omwogezi wa SFC, Jimmy Omara yagambye nti, baakuuma Mbabazi nga ISO efunye obutakkaanya ne poliisi kyokka embeera bwe yadda mu nteeko, baavaayo ne balekayo aba ISO kati be bamukuuma.

Kyokka ensonda mu ISO zaategeezezza nti, SFC yeekuuma Mbabazi era omujaasi eyakubiddwa essasi, wa SFC. Dayirekita Genero wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagaanye okubaako ky’ayogera n’agamba nti, wabaddewo akabenje akaatuseewo era teketaaga kumalirako budde nga waliwo ensonga ez’amaanyi ezitawaanya eggwanga.

Mbabazi yasibirwa mu makaage agasangibwa mu zooni ya Ssendawula e Lunguijja nga 15/09/2017 akulira ekitongole ekikessi mu ggwanga ekya ISO, Col Frank Kaka Bagyenda nga bamulumiriza okubaako ky’amanyi ku kuttibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi AIGP Andrew Felix Kaweesi eyattibwa mu bukambwe nga March 17, 2017. Mbabazi, y’omu ku bajulizi ISO beerina okulumiriza abasibe abaakwatibwa ku byokuttibwa kwa Kaweesi ng’abasinga baali baserikale ba poliisi naddala abaali bakolera mu kitongole kya Flying Squad.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba