TOP

Ebya Prof. Bukenya ne mukyala we tebinnaggwa

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2019

Ebya Prof. Bukenya ne mukyala we tebinnaggwa

Kip2 703x422

Polof. Bukenya ne mukyala we, Margaret gye buvuddeko.

MUKA Polofeesa Gilbert Baalibaseka Bukenya ow’empeta, Margaret Bukenya ayanukudde bba nti tebakkaanyangako kwawukana nga Bukenya bwe yategeeza n’ebyobugagga baabikola bombi.

Bino biri mu nnyanukula ya Dr. Margaret Bukenya ku kwewozaako kwa Polofeesa Bukenya kwe yawa kkooti gye buvuddeko. Mukyala Bukenya yategeezezza nti tebakkaanyangako buli omu kubeera yekka.

Yagambye nti ajja kuleeta obujulizi obukakasa kino nti wakati wa 2003 ne 2012 baabeeranga bonna newakubadde Polofeesa Bukenya yakolanga obwenzi nga n’ensonga eno yatuukako mu klezia aba famire n’abeekika ne bagezaako okubatabaganya kyokka byalema.

Kino kiddiridde Bukenya okutegeeza nti bakkaanya ne mukyala we Margaret mu 2003 nti buli omu abeere yekka nti kyokka ekyo tekyategeeza nti ye Bukenya olwo afuuse ‘Faaza’. Mukyala Bukenya akikkaatiriza nti omugenzi Stella Njuba talina ssente yonna gye yassa ku poloti n’ekizimbe ebisangibwa e Kakiri ekiriko Post Bank wamu ne poloti n’ekizimbe ebisangibwa e Kakiri okuli aba Francisca Clinic.

Mukyala Bukenya agamba nti teyakoma ku kussaamu ssente mu bintu bino wabula yeenyigira butereevu ku nzirukanya ya Francisca Clinic wabula oluvannyuma Polof. Bukenya n’amugaana okuddamu okulinnya e Lwantama ne Kakiri.

Kino kiddiridde Polofeesa Bukenya okugamba nti yabikola ne Stella Njuba era oluvannyuma lw’okufa , kati biyamba baana ba Stella Njuba. Mukyala Bukenya alumiriza nti yeenyingira buteerevu mu kugula n’okukulaakulanya ebyobugagga ebisangibwa e Garuga ne Kakiri noolwekyo naye alina okufuna ku mugabo ogwo .

Mukyala Bukenya agamba ettaka erisangibwa e Garuga- Katomi okuli wooteeri gaggadde n’amaka ag’ebbeeyi byazimbibwa mu ssente za famire ezaafunibwanga okuva mu gavumenti eyali ekozesa ennyumba yaabwe ey’e Ntinda nga amaka g’omumyuka wa Pulezidenti okumala emyaka 8, Polof. Bukenya gye yamala mu kifo ekyo.

Kino kiddiridde Bukenya okutegeeza nti biriko nannyinibyo gwe yayita Bill Bertrand bwe baludde nga bakolagana emyaka kati 40 era ye (Polof. Bukenya) alinako omugabo mutono. Kino kiddiridde polofeesa Bukenya okukkiriza okusaba kwa mukyalawe bagattululwe kyokka n’akuba enkanda wansi nti teri kugabana byabugagga bye kubanga naye mw’aggya ssente ezimubeezaawo mu bukadde bwe.

Dr. Margaret Musoke Bukenya gye buvuddeko yagenda mu kkooti Enkulu etawulula enkaayana z’abafumbo ku fayiro nnamba DC 069/2019 n’alaga olukalala lw’abakazi abasoba mu 10 b’alumiriza bba okuganza abakazi omuli; abayimbi, bannakatemba n’abakozi be, n’asaba kkooti bagattulwe n’ebyobugagga byabwe byonna babigabanire wakati.

Ng’ayita mu balooya be aba kampuni ya Ligomarc Advocates yategeeza nti obufumbo bwabwe ne Bukenya obumaze emyaka 45 bwafa dda olw’abakazi Polof. Bukenya be yaganza okumukumu okuli: Sheila Nvannungi, Irene Namubiru, Jackie Tusiime amanyiddwa nga Jackie O Abakazi abalala kuliko:

Omubaka Cissy Namujju Dionizia ow’e Lwengo, Shony Batanda, Margaret Kabasinguzi Nyabongo Akiiki, Teddy Ndagire, Stella Njuba, Jamila Nakku, Justine Najjemba, Josephine Nakafu nga n’abamu yabazaalamu abaana wadde nga yali mu bufumbo bwa mpeta ne mukyala we.

Wabula mu kwewozaako kwa, Polof. Bukenya yagamba nti bakkaanya ne mukazi we buli omu abeere yekka era nti ekyo tekyategeeza nti ayingidde mu bulamu obwa bafaaza. Wabula n’asimba nnakakongo nti tajja kukkiriza kugabanya byabugagga bye kubanga mukazi we Margaret yamuwa ennyumba bbiri ezisangibwa e Ntinda ku poloti 10 Muwafu Road ne poloti 9 Martyrs Road e Ntinda era wano we wasangibwa amaka gaabwe.

Babukenya baagattibwa mu bufumbo obutukuvu nga September 21, 1974 ku St. Augustine Chapel ku yunivasite e Makerere ne baazaala abaana basatu okuli Richard Mutawonga Bukenya 45, Georgina Nabukenya Bukenya 42 ne Gilbert Roy Bukenya Kamoga 37.

Agamba nti obufumbo bwabwe bwatandika okuyuuga olw’obwenzi bwa Polofeesa Bukenya era n’amaka ge ag’e Ntinda, Gilbert Bukenya yagavaamu dda, takyagasulamu.

Mukyala Bukenya agamba kati emyaka 10 nga Bukenya yagenda mu maka amalala agasangibwa e Garuga Katomi gy’akolera obubaga n’okwesanyusa ne basereebu ab’enjawulo nga bino byonna bimuleetedde okusalawo baawukane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono