TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Omunnyo gwa Himalayan okusitula omutindo gw’enkwaso

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Omunnyo gwa Himalayan okusitula omutindo gw’enkwaso

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Omunnyo gwa Himalayan okusitula omutindo gw’enkwaso

Man2 703x422

Omunnyo gwa Himalayan nga bwe gufaanana.

ABANTU bakimanyi nti mu nnyumba temusaanye kubulamu munnyo, olw’obukulu bwago. ssinga guggwaawo odduka ku muliraano n’osabayo gw’osobola okukozesa ku lunaku olwo. Ekirala ekikulu mu maka ye sukaali, kale bwe twakizuula nti ebyo bibiri bikulu kwe kusalawo okukuyiiyiza sukaali wa Stevia ow’obutonde n’omunnyo.

Omunnyo ogwabulijjo guno gw’olaba ogutukula, wabula okutukula kuno ate kuleese ekizibu, kubanga omunnyo guno bwe bamala okugusima okugulongoosa okutukula bateekamu ebirungo eby’enjawulo okuli ekya Iodine n’ekya Monosodium Glutamate (MSG), nga kino kireetera omuntu n’okuyoyaayoya oba oli awo oli n’agamba kannuune ku munnyo oba akuguliira ku muyembe oba ennaanansi ate nga mwattu biwoomerera okwo gattako okuwulira nga omunnyo gw’alya tegunoga.

Kino kivaako endwadde okuli ez’omutima, emisuwa, okunafuwa, puleesa n’ebirala. Mu mbeera eno ekivaamu n’gabasawo bakugamba nti vva ku munnyo kubanga teguba mulungi olw’ebirungo ebyongerwamu.

Naye bwe banakugamba oguveeko ogenda kukola otya kubanga emmere eteriimu munnyo nga teriika! Aba prof Bioresearch, kye tuvudde tukuleetera omunnyo ogwa Himalayan oba guyite omunnyo omumyufu gw’osobola okulya n’otakosebwa.

Omunnyo guno gwa byafaayo era gumazeewo emyaka mingi era abazungu bagukozesa lwakuba ffe bangi tetugumanyi. Omunnyo guno guva mu njazi era ne Kenya olwazi luno gye luli wabula lutono, nga basinga kuguggya Pakistan.

Kati ffe tumerengudde omunnyo ne tugukutuusaako ku mmeeza yo nga bw’olaba omunnyo ogw’ekisula nagwo oguva mu njazi.

Emigaso gY’omunnyo l Guyamba abalwadde b’omutima kubanga tegukubisa ntunnunsi, gulimu eminnyo 99 ku egyo 120 omunnyo gye gwetaaga okuli eminnyo emikulu nga Calcium, iron n’emirala kyokka ogwabulijjo gulimu Sodium yekka.

 

 Omunnyo guno tegukaza nga guno ogwabulijjo gwe tulya era ky’ova olaba nga bw’oguteeka ku bbwa likala wamu n’okusalaasala ssinga ogulya nga mubisi.

 singa oguteeka mu mazzi agabuguma, gusala omugejjo n’okugogola emisuwa ssinga ogutabulamu enniimu n’amajaani ga kalittunsi onywe ku makya n’ekiro ate gujja kukuyamba n’okussa obulungi ssinga obeera ozibikira ekiwanga.

Guyamba okwongera ku mutindo gw’enkwaso z’abasajja omuntu n’asobola okuzaala omwana nga mulamu. Amasimu gasse omutindo gw’enkwaso z’abasajja naye omunnyo guno gujja kubayamba.

Guyamba okulongoosa ku magi g’abakyala n’okubooza enseke.

Omunnyo guyamba okusumulula olubuto ne luba nga terwesiba n’awona alusa ne kkookolo. l Guyamba omuntu obutalwala ddookookoli naddala ery’omunda olwekirungo kya Serenium ekigulimu, anti eddookooli lireetera omuntu okwennyamira n’obukambwe, era Abachina n’Abayindi abagulya tebagalwala.

Guyamba ku baana abavaako waya oba buyite obulwadde bwa Autism, oluusi abazadde balowooza nti abaana balina eddalu erya bulijjo sso nga bulwadde. Ate era gukola ne ku bantu abakulu. Ate osobola n’okugulya nga mubisi teguba na mutawaana gwonna. l Wiiki ejja nja kukulaga engeri gy’oyinza okukozesaamu omunnyo gwa Himalayan mu nnimiro n’ebisolo. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba