TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulimu gw’okulima ebinazi n’okusoomooza okukulimu

Omulimu gw’okulima ebinazi n’okusoomooza okukulimu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2019

Omulimu gw’okulima ebinazi n’okusoomooza okukulimu

Lop2 703x422

EBINAZI gwe gumu ku mulimu omupya e Kalangala kyokka guzze n’okusoomooza wadde waliwo bangi abafunyemu.

James Matovu 64, ow’e Buyoga agamba nti pulojekiti y’okulima ebinazi ebakoledde kubanga waliwo n’abantu abaali tebasulangako mu nnyumba ya bbaati naye bwe baatunda ettaka, beegulira ku mabaati, emmotoka n’ebirala. Ate ebinazi bwe byakula mu myaka nga mukaaga abantu ne beeyongera ssente kubanga abaasooka baabifunamu wabula obuzibu bwajja luvannyuma.

Matovu yategeezezza Bukedde nti, okulima ebinazi byaleetera abantu okwetundako ettaka ate ku ssente entono ng’okuviira ddala eyo mu 2004, yiika baagitunda okuva ku bukadde mukaaga n’omusanvu.

Bano baafi irwa nnyo kubanga ettaka bwe lyamala okuggwaawo ate ne lifuuka lya bbeeyi nga n’abamu ssente ze baafuna baazirya dda nga kati ku ttaka lye baatunda kwe baabafuulira abapakasi b’okulimisa ebinazi.

Ate abaagulanga ettaka lino nga basooka ne batema emiti ne bagitunda ne baggyamu ssente ezisinga ne ze baaguze ettaka. Kwe kugamba baafunanga amagoba mangi abaatunda kye bataasooka kulowoozaako.

Matovu agamba nti, mu kiseera kino okusanga yiika y’ettaka mu kabuga k’e Kalangala osobola okugigula obukadde 300. Nti okuva ettaka lwe lyafuuka ery’ettunzi, ekibbattaka kyatuuka e Kalangala ng’ate ekyo baali tebakiwulirangako.

Obuzibu obusinga be b’enganda okuyita mu bannaabwe ne batunda ng’abalala tebategedde olwo ne batabuka n’okulwanagana enkya n’eggulo. Okutema ebibira n’okwetundako ettaka, Matovu agamba nti byalinnyisa ebintu omuli amanda ensawo eyali ku 2,000/- kati eri wakati wa 15,000/- ne 20,000/-. (E Kampala eri ku 70,000/- okudda waggulu).

N’emmere eriibwa esinga kati eva Masaka ne Kampala kubanga ettaka ku kizinga Buggala balimirako binazi. Emmwaanyi n’emmere endala tebikyaliyo. OMULIMI W’EBINAZI ABITENDA Bryan Bbosa omulimi w’ebinazi abiguza Abayindi aba kkampuni ya BIDCO. Anyumya nti guno omulimu gwafuuka gwa kika ewaabwe kubanga bonna gwe bakola.

Agamba nti bibanguyirizza obulamu bw’okubeerako ne ssente mu nsawo ng’ate luli baakolanga gwa buvubi, okwokya amanda n’okusala embaawo. Wabula yategeezezza nti ekinazi kintu kizibu kya kukuza kubanga kyetaagisa ettaka eggimu ng’olina okugula ebigimusa, birwawo okukula n’okwengera naddala nga bisooka busoosi.

Byetaaga entambula okubikungula n’okubitwalira ababigula, byetaaga ettaka ddene, byetaaga enkuba nnyingi ate bw’etonnya ennyo byengerera kumukumu olwo be babiguza ne bakendeeza bbeeyi era kati kiro bagigula 442/-. Agamba nti babikungula ne babiwa omuntu omu abitwala mu BIDCO ye n’abatwalira ssente zaabwe kyokka oluusi kiro bagisala nga bawoza nti ebimu bifu ekintu ekibamalamu amaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba